Amawulire

Nnyimirizzaawo abavubuka 250 ku ffaamu yange ey’enkoko

MU 2015 Vision Group yategeka empaka z’Omulimi Asinga nga bw’ekikola buli mwaka era ne Sowedi Malenya we yafunira omukisa okuwangula nga omulimi eyasinga banne mu Buvanjuba bwa Uganda n’atwalibwa e Budaaki. Ono alunda nkoko ennansi, ez’amagi ne kkuloyira.Mutuuze ku kyalo Solo mu munisipaali y’e Busia mu disitulikiti y’e Busia, mufumbo w’abakyala babiri era bonna bakola mu kkampuni yaabwe ey’okulunda enkoko

Malenya ng’agabirira enkoko empanga eza Kuroiler.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MU 2015 Vision Group yategeka empaka z’Omulimi Asinga nga bw’ekikola buli mwaka era ne Sowedi Malenya we yafunira omukisa okuwangula nga omulimi eyasinga banne mu Buvanjuba bwa Uganda n’atwalibwa e Budaaki. Ono alunda nkoko ennansi, ez’amagi ne kkuloyira.
Mutuuze ku kyalo Solo mu munisipaali y’e Busia mu disitulikiti y’e Busia, mufumbo w’abakyala babiri era bonna bakola mu kkampuni yaabwe ey’okulunda enkoko.
Agamba nti, eky’okugenda e Budaaki y’eyali emmanduso y’okugoba obwavu era okuva olwo taddanga mabega. Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa zitegekebwa kkampuni
ya Vision Group ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM n’eya Koudjis Nutrition BV ekola emmere y’ebinyonyi n’ensolo.
Mu kiseera we yagendera mu mpaka zino mu 2015 yalina yiika 10 nga kw’akolera emirimu gye era nga kwe yassa ebiyumba by’enkoko. Agamba nti, bwe yadda okuva e Budaaki yatuuza bakyala be n’ababuulira ky’ayizeeyo nga kye baalina okukola kwe kugaziya omulimu gwabwe efuukire ddala kkampuni ey’amaanyi.
Yaweebwa obukadde 6 era ssente zino zonna n’azongeramu mulimu bw’agamba. Nga
tannatwalibwa Budaaki agamba nti, yalina ekirooto kya kusitula bizinensi ye okutuuka ku bukadde 800, kino yatandika okukissa mu nkola oluvannyuma lw’okudda.
Mu 2017 yazimba ebiyumba by’enkoko bina (4) bye yakoppa e Budaaki ebiri ku mutindo. Bigazi bulungi okuyingiza empewo emala ebinyonyi, we yagendera e Budaaki
agamba nti, yalina enkoko 8,000 naye okuva lwe yakomawo n’amaanyi ge yassa mu mulimu gwe agamba kati alina enkoko 120,000.
Yafuna n’ekyuma ekyaluza obukoko nga buli lwaluza afulumya obukoko 80,000. Ayaluza magi g’afuna mu nkoko ezibiika ag’okwaluza ng’alina empanga 400. Alinamu n’ezibiika ag’okulya era zino yazaawula ku zibiika agaaluzibwa.
Maneja w’enkoko zino, Halima Mutesi agamba nti, buli mwezi batunda enkoko eziri wakati wa 25,000 ne 40,000 kuba akatale k’enkoko weekali era beetaaga okwongerako kubanga abaguzi bava wano n’e Kenya.
Ate amagi nago gatundibwayo n’amalala ne gatwalibwa e South Sudan. Abasinga okugula enkoko ba wooteeri ennene, abatunda ez’oku ssigiri n’ab’omucomo.
NNEEKOLERA EMMERE
Ku nsonga y’okulabirira n’okuliisa enkoko zino, Malenya agamba nti, kino yakisalira amagezi kubanga alina ekyuma ky’emmwaanyi mw’aggya obukuta obussibwa mu biyumba, era alina n’ekyuma kya kasooli n’omuceere bino bimuyamba ku mmere okugyekolera era awa abalunzi amagezi okwetabulira emmere okwewala ebicupuli by’emmere ebiyinza okuvaako enkoko okukonziba ne bafiirizibwa.
KALIMBWE MMUFUNAMU BUKADDE
Buli luvannyuma lwa myezi ebiri Malenya agamba nti, alina okuyoolamu bukuta mu biyumba obuba bwetabudde ne kalimbwe ne bassaamu obulala. Ate wano nawo
kalimbwe amufunamu ssente kuba buli kisawo akitunda 10,000/- ate nga baggyamu ebisawo 600 buli lulongoosa, ono kalimbwe bamuguza abalimi b’ennaanansi okuva
e Luweero ne Kayunga.
Kuno agattako okulima omuceere mu Butaleja era alimira ku
yiika 100, n’afunayo ensawo 1,100 buli lukungula ate omuceere gwe agutunda na bikuta. Agusunsula n’agutunda nga guwedde okusa era aggyamu kkiro eziri mu 110,000.
NKOZESA ABAVUBUKA 250
Ayambye abavubuka okufuna emirimu n’okubatendeka ku nnima eyinza okubabbula okuva mu bwavu.
Akozesa abavubuka 250 abamuyambako mu mirimu era yaguze ettaka eddala mu Busia
eriweza yiika 10 kwe yatadde ekyuma ekikuba bbulooka okuyamba ku bavubuka okufuna emirimu. Agamba nti, emabegako abavubuka mu Busia ssente baaziggyanga mu magendo ga ‘funtula’, naye okuva gavumenti lwe yayiwa amagye ku nsalo okulwanyisa amagendo, abavubuka bangi baasigala tebalina mirimu naye kati bangi bakola okusobola okweyimirizaawo.
Wadde okusoma kwange kutono, Vision Group okuntwala e Budaaki yanfuula mukugu, wadde siri mulangira naye Vision Group yanfuula mulangira era kati nnina emikwano okuva e Kenya, DR Congo, South Sudan ne Tanzania, abamu bajja kwebuuza ku magezi
na ngeri gye nkikolamu

Tags: