Muwada ayogedde ku bya Besigye

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Muwada Nkunyingi alaze obutali bumativu ku ngeri Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obeid Lutale gye baakwatiddwaamu e Kenya n’agamba nti ekontana n’amateeka g’ensi yonna ku ddembe ly’obuntu

Omubaka Muwada Nkunyingi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Muwada Nkunyingi alaze obutali bumativu ku ngeri Dr. Kiiza Besigye ne Hajji Obeid Lutale gye baakwatiddwaamu e Kenya n’agamba nti ekontana n’amateeka g’ensi yonna ku ddembe ly’obuntu.

Mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Palamenti, Nkunyingi era nga ye minisita ku ludda oluvuganya ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga yategeezezza nti ekikolwa eky’okukwatira Bannayuganda mu Kenya ne bateekebwa mu mikono gw’abeebyokwerinda mu Uganda bwe kitali kituufu.

Muwada yannyonnyodde nti amateeka galambika nti wateekeddwa okubaawo endagaano wakati w’amawanga okusobola okukwata omuntu okumuggya mu ggwanga erimu okuzzibwa mu ddala.

Yagambye nti mu mbeera ng’eyatuuse ku Besigye, bwe wabaawo endagaano wakati w’amawanga gombi, gavumenti ya Uganda yandisoose kufuna kibaluwa kibakuntumye okuva mu kkooti yaayo n’egiweereza e Kenya, yo n’enoonya Besigye n’emutwala mu kkooti okuwa obujulizi lwaki yeetaagibwa okukwakwatibwa. Byonna tebyakoleddwa