PULEZIDENTI Museveni asisinkanye Abataka abakulu b’ebika mu Buganda n’abasuubiza okubafunira ennyonyi bagende e Namibia okukyalira ku Kabaka gwe bagamba nti bamaze ebbanga ddene nga tebamulabako ate nga yagenda mulwadde.
Ensisinkano eno yabaddewo ku Lwomukaaga June 8, 2024 mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe. Bano baakulembeddwaamu Omutaka Kyaddondo Mbugeeramula Kasirye (Owenvuma) ng’era ye yasomye ekiwandiiko kyabwe.
Mu nsonga ze baatadde mu kiwandiiko kino mwe mwabadde n’okusaba Museveni abakwatireko bafune ssente ezinaabasobozesa okugenda e Namibia okukyalira ku Kabaka n’okulaba embeera y’obulamu bweri.
Ekirowoozo ekyabaddewo kyasoose kwogera ku nnyonyi ennene bonna bagende, kyokka oluvannyuma Museveni n’agamba nti bajja kufuna entabumla yonna esoboka era kwe bajja okusinziira okusalawo omuwendo gw’abanaagenda.
Ku lwa May 30, 2024 Abataka mu lukiiko lwabwe olwatuula e Bulange - Mmengo baayisa ekiteeso ky’okwerondamu abantu basatu okugenda e Namibia okusisinkana Omutanda.
Okuva olwo buli Kika kyalagirwa okusonda akakadde kamu okufuna ssente ezinaatambuza Abataka abo okuli Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba nga y’akulira ekika ky’Ekkobe, Omutaka Kasujja Sheba Kakande Kasujja akulira ekika ky’Engeye ate n’Omutaka Batuuka Kizito Kafumu ow’ekika ky’Akayozi.
“Oluvanyuma lw’okulaba ng’okusonda ensimbi kuyinza okulwawo, kwe kwolekeza ensonga eno eri Pulezidenti wa Uganda, atukwatireko ku nsonga eno ate n’okulaba nga tufuna obwangu mu lugendo lwaffe olwo,” ensonda ezaabadde mu nsisinkano eno bwe zaategeezezza Bukedde.
Olunaku lwa leero (Lwakubiri), Abataka bagenda kutuula beerondemu omuwendo gw’abo abanaabeera abeetegefu okugenda e Namibia olwo balyoke bagobe ku biwandiiko ebibatwala.
Ensonga eyookubiri eyayogeddwaako mu nsisinkano eno kwe kwebaza Museveni olw’ettaka lye yabagulira e Mmengo okuteekako ekizimbe kwe bagenda okuteeka ofiisi zaabwe.
Abataka bano baabadde ne minisita Omubeezi owa Tekinologiya mu gavumenti eya wakati, Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, wamu ne Ssewava Sserubiri ng’ono yaliko Minisita wa Kabaka.
Ku mulundi guno Abakulu b’ebika baaweze nga 18 ne bakatikkiro b’ebika nga 15 kubanga baabadde balina okwegabanyamu ate abalala okusigala ku mukolo gw’okuggalawo empaka z’ebika by’Abaganda ogwabadde e Wankulukuku ku lunaku olwo lwennyini.
Baayongedde ne bamusaba abakwatireko ku kizimbe kye baagala okuzimba ku ttaka lye yabagulira. Abataka baagenze ne bayinginiya baabwe, baali baabalirira ekizimbe kino eky’emyaliro omukaaga nga kyakumalawo obuwumbi 58.
Mu kwogerezeganya, Museveni yabasabye nti akozese bayinginiya be aba UPDF nga kino kyakuyamba okukendeeza ku bungi bwa ssente ezeetaagisa mu mulimu guno era baagenze okwabuka ng’ensimbi obuwumbi 38 ze zigenda okukozesebwa.
Ettaka lino erisangibwa mu kibanja ky’ennono eky’abeekika ky’Enjovu ku luguudo Kabakanjangala, lyagulibwa omwaka oguwedde okuva ku Pr. Dr. John Benon Duncan Kakembo Ssensalire nga ye Ssaabalabirizi eyawummula ow’ekkanisa y’Abadiventi.
Okusinzira ku mawulire agava mu Bataka bano, Museveni yabasuubizza okufuna olunaku lw’anajja ku ttaka lino okuliraba ate era atongoze omulimu gw’okuzimba mu bbanga eritali lya wala.
EBIRALA BYE BAAYOGEDDEKO
Abataka baasabye Museveni okwongera amaanyi mu kulwanyisa ekibbattaka era ku kino yasazeewo okuteekawo emmeeza egenda okukola ku nsonga z’ettaka ly’obutaka obutereevu.
Pulezidenti Museveni yasabye abataka bano okujjumbira enteekateeka za Gavumenti ez’okweggya mu bwavu okuli PDM, Emyooga ate ebika ebikyalina ettaka bisaanye okuteeka mu nkola enteekateeka ya yiika ennya (4-acre project).