Amawulire

Munne wa Fik Gaza avunaaniddwa olw'okufumita omuntu ekiso n'amutta

POLIISI ekutte munne w’omuyimbi Fik Gaza eyadduka mu ddwaliro gyeyatwalibwa ng'akubiddwa abatuuze ku by’okutta omugoba wa boda boda e Makindye.

Charles Zziwa
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

POLIISI ekutte munne w’omuyimbi Fik Gaza eyadduka mu ddwaliro gyeyatwalibwa ng'akubiddwa abatuuze ku by’okutta omugoba wa boda boda e Makindye.

Abeebyokwerinda okukwata Charles Zziwa amanyiddwa nga Muzungu kyaddiridde okukwatibwa kwa mukamawaabwe Shafik Jjingo amanyiddwa nga Fik Gaza ku lwokuna oluwedde.

Zziwa 23, asimbiddwa mu kkooti e Makindye navunaanibwa okutta Tonny Migadde mu 2024 Migadde bweyali anyuse ne mukyala we nga badda awaka. Ono yaagatiddwa mu balala abasooka okuvunaanibwa okuli ne Sowed Kyagonga ssentebe w’ekyalo Katale Lusaka Zooni mu munispaali y’e Makindye.

Abalala asooka okuvunaanibwa kuliko Umar Ntale, John Mutebi,Abubakar Mugoya ne Robert Gonda nga batuuze mu Katale zooni e Lusaka mu munispaali ye Makindye.

Kigambibwa nti musango baaguzza nga October 9,2024 kyokka Zziwa bweyakwatibwa olwokuba yali akubiddwa abatuuze , poliisi yamutwala e Mulago okufuna obujjanjabi kyokka yasumagiza omuserikale eyali amukuuma naddukayo.

Okuva 2024, kyatgerekese nti abeebyokwerinda babadde banoonya muzungu okutuusa lweyakwatiddwa mu bikwekweto byokufuuza ababbi mu bitundu bya Makindye ekyatwaliddemu ne Fik Gaza.

Omulamuzi Ann Sarah Basemera owa kkooti e Makindye asomedde Muzungu omusango kyokka teyamuganyizza kubaako kyayogera kubanga guno musango gwannaggomola nga kkooti ye Terina lukusa kuguwulira.

Kyokka Muzungu ategezezza omulamuzi nti emyaka 23 baamuwadde mingi, ng’ate alina 17 wabula omulamuzi amugumizza nti abamakomera bagenda kumukebera bwanaaba wansi w’emyaka 18 atwalibwe e Naguru mu kkomera ly’abaana.

Omulamuzi yamusindise Luzira okutuusa nga May 8,2025 lwanadda mu kkooti okuwulira okunoyereza wekunaaba kutuuse

Tags: