Mukozese obusibe okukyusa ebikolwa byammwe - Dr. Byabasaija

May 26, 2024

AKULIRA ekitongole ky'amakomera mu ggwanga Can. Dr. Johnson O.R Byabashaija , akubirizza abasibe okukozesa obusibe okukyusa ebikolwa byabwe nga bagondera amateeka n'okubeera abakozi.

Mukozese obusibe okukyusa ebikolwa byammwe - Dr. Byabasaija

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde

AKULIRA ekitongole ky'amakomera mu ggwanga Can. Dr. Johnson O.R Byabashaija , akubirizza abasibe okukozesa obusibe okukyusa ebikolwa byabwe nga bagondera amateeka n'okubeera abakozi.

Bino Dr. Byabashaija, abyogeredde ku kkomera lya Uganda Prison e Ntungamo epya, bw'abadde akomekkereza okulambula okw'ennaku ebbiri z'amaze mu bitundu byeyo.

Alambudde amayumba abasirikale mwe basula, ekifo mwe bakuumira abasibe, gye baddukanyiza emirimu n'okwekebejja embeera abasibe gye balimu.

Akalaatidde abakulira amakomera gano, okulaba ng'abasibe bafuna obujanjabi obumala, okufuna obwenkanya nga batwalibwa mu kkooti, okubazza obuggya n'okubateekateeka nga badda mu byalo gye balina okubeera nga bamalirizza ebibonerezo byabwe.

Asiimye abasirikale ku kkomera lino, olw'obuyonjo , okukola obulungi emirimu  era n'abasaba okwekebeza entakera n'okufuna nga obujanjabi nga kibadde kyetaagisizza .

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment

More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});