ABAKULEMBEZE mu bika bya Buganda basabiddwa okussa ebintu by’ekika mu kitongole okubiddukanya okusobola okumalawo endooliito n’entalo ku ttaka ly’ekika.
Joseph Mukasa ng'ayogera.
Bino byayogeddwa omukulu w’Essiga lya Nkalubo mu kika ky’omusu Obadia Ssebyondwa bwe yabadde asisinkanye abaana n’abazzukulu mu lunyiriri lwa Mwambuze mu Kitungwa Kyadondo mu nteekateeka y’omukulu w’Essiga lino gy’alimu ey’okulambula ennyiriri ez’enjawulo n’ekigendererwa eky’okwongera okumanyagana n’okwongera okumanyisa abazzukulu emirimu n’ebikwata ku kika kyabwe eky’Omusu.
Bano baasoose kulambula kiggya ekikulu eky’olunyiriri era omukulu w’olunyiriri Fredrick William Bawami Ssebuggwawo n’asaba omukulu w’essiga okubakkiriza okukuba embuga y’olunyiriri lwa mwambuze Mukitungwa ewali ekiggya ky’olunyiriri lwa Mwambuze.
Ssebyoyondwa yategeezezza nti Essiga lya nkalubo liri mu nteekateeka ya kuwandiisa akakiiko akagenda okuvunaanyizibwa ku kuddukanya ebintu by’ekika okusobola okumalawo entalo ezibaddewo naddala ku ttaka ly’ebika olw’abaana okulikaayaniranga n’asaba abantu okukomya okwetundako ettaka eryabalekebwa bakadde baabwe kisobozese abaana baabwe okubeera n’obutaka.
Omubuulizi Ephraim K Mpiima okuva ku kkanisa ya St. Micheal Mbugu mu Busaabadinkoni bw’e Kazo mu Bulabirizi bw’e Namirembe yennyamidde olw’okusereba kw’empisa naddala mu bavubuka n’asaba abakulembeze b’ebika wamu n’abazadde okulungamya abaana ku mpisa n’enono za Baganda.
Omubuulizi Ephraim K Mpiima.
Joseph Musoke yannyonnyodde ku bukulu bw’okumanyagana n’ategeeza nti kiyamba okuzimba obumu n’okumanya ebikwata ku bika byabwe wamu n’okwekulaakulanya n’ategeeza nti ebika y’emu ku mpagi eziyinza okuyamba okutumbula Buganda ssinga abantu bakolera wamu.
Gerald Nkalubo omuwanika w’Essiga lya Nkalubo era ng’ava mu lunyiriri lwa Mwambuze yategeezezza nti balina enteekateeka ey’okutumbula essiga okulizza ku ntikko okuwandiisa Trustee” enaayamba okuddukanya ebintu by’ekika wamu n’okussaawo SACCO enaayamba abaana n’abazzukulu okwekulaakulanyiza awamu.
Abamu ku bakulu mu bika abaabaddeyo.