'Mufeeyo okuleka emikululo egy'ensonga'

Disitulikiti khadhi wa Wakiso Elias Kigozi asabye abantu okukola ebintu ebinaasigala nga biboogerwako mu bulungi, baleme kuvaawo ate abaana be bazadde basigale n’omukululo omukyamu nga eyagukola yafa dda.

'Mufeeyo okuleka emikululo egy'ensonga'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Khasifah Naava

Bino Kigozi yabyogeredde ku Hotel African ku mukolo gw’okutongooza akatabo akayitiibwa Obulamu bwo,gwe mukululo gwo(Your Life your Legacy )akawandikiddwa Fatuma Namuju.

Yagambye nti kikola bubi abaana okusigaza omukululo gwa bazadde baabwe nga ebiboogerwako si birungi, n'asaba abantu okubeera abamalirivu mu bye bakola ebitwala eggwanga n'eddiini mu maaso ate n'abakuutira n’okubeera abakozi ennyo saako n’okwambala obulungi si ku mikolo kwokka.

Kigozi yasabye abantu obutabeera bannanfuusi n'agamba nti obunnanfuusi tebulina we bukugasiza wano kunsi ne bw'oba ofudde, n'agamba nti abantu bangi bamanyi okutulaga ekirala ku ngulu ate nga munda waliyo kirala ekintu ekitali kituufu bw'atyo ne yeebaza Fatumah Namuju okubeera nti mwerufu.

Ate AIGP Asan Kasingye eyaakawummula egy'obwa Poliisi yasabye abavubuka okubeera ab'amazima , abakkakkamu, okubeera abeesimbu awo ensi bajja kugiwangula mu ssanyu.

“Nawummula naye ndi mugumu nti tewali  amanja, saalya ssente ya muntu, sabbako, ate saalya ku nguzi era nsobola okutambula buli wamu nga sirina kyentya,”bw'atyo Kasingye bwe yategeezezza.

Yasabye abazadde okukola byonna bye bakola naye abaana tebabarekera mikululo mibi.

"Mulekere awo okukola ebintu nga temwefirayo buli kyemukola mukikole nekigendererwa," Kasingye bwe yayongeddeko.

Ate ye Dr. Hawah Kasule yasabye abantu okuyamba abalala, kubanga essanyu olifuna buli lwoyamba omulala.

Ye Sheikh Burhan Muhsin Kitti yasabye abantu okwekuba mu mutima batunulire emikululo gyabwe nga bakyali balamu balabe oba gibasanyusa, bwe giba si mirungi obudde bukyaliyo basobola okukyusa oli n'alongoosaamu.

Yasabye n'abazadde okuzaala abaana kubanga okulabirira kubeera kwa Allah bave ku nkola ya kizaalaggumba nga beekwasa nti tewali kye bagenda kubaliisa.

Ye Hajjat Fatumah Namuju omuwandiisi w'akatabo kano yagambye nti ekyamuwandiisa akatabo kano bwe yakitegera nti waliwo bamaama abeetaaga okufiibwako, ate nga kyetaagisa n’okuzimbira abakadde abateesobola we basula n'asalawo okuwandiika akatabo kano nga ssente ezinaavaamu zijja kumuyambako okutuukiriza ebiruubirwa bye yayogeddeko.