Bya Ponsiano Nsimbi
Bwannamukulu w'Ekigo kya St. Joseph Kyengera Msgr. Lawrence Kanyike mwenyamivu olw'obwavu ebweyongedde ennyo mu bantu.
Msgr. Kanyike agamba nti gavumenti tekoze kimala kulwanyisa bwavu mu bantu, ng'abalina balina nnyo ate n'abaavu baavu nnyo.
Ono kati ayagala gavumenti eyongere amaanyi mu nteekateeka z'okuyamba Bannayuganda bonna ate efube okulaba nga wabeerawo obwenkanya kisoboozese buli Munnayuganda okweyagalira mu nsi ye.
Ono alaze okutya olw'engeri gavumenti gy’ekuttemu enteekateeka y'okuggulawo amasomero gy’agamba nti teraga mutima gulumirirwa eri abayizi n'abazadde.
Yanokoddeyo eky'omuwendo gw’abayizi abafuna embuto ogweyongera buli lukya ky’agamba nti kivudde ku muggalo gw’amasomero n’amasinzizo gye baddizibwangamu essuubi n'okubabudaabuda.