Bya Sharon Nabasirye
GAVUMENTI etongozza enteekateeka ey'okuyamba abanoonyi b'obubudamu mu Uganda.
Enteekateeka eno yaakuwemmenta ensimbi eziwerera ddala obukadde bwa doola 450 .
Bino byogeddwa minisita w'ebyenjigiriza, Janet Kataha Museveni bw’abadde atongoza enteekateeka y'ebyensoma by’ababundabunda eyookubiri mu maka g'obwapulezidenti e Nakasero.
Mu nteekateeka eyasooka , minisita Janet Museveni ategeezezza nti baagenderera okussaawo embeera esobozesa buli muntu mu nkambi zino okufuna ebyenjigiriza eby'omulembe, okutereeza embeera ey'okufunamu obuyambi bw’ababundabunda wabula ng’ enteekateeka eno eyookubiri egendereddwaamu okuyamba abantu 674,895 okuganyulwamu buli mwaka.
Enteekateeka etongozeddwa yaakutandika mwaka 2024/2025 , era obukadde 450 obwa doola bwe bussiddwaawo okuyamba abanoonyi b'obubudamu mu disitulikiti z'eggwanga ez'enjawulo, bonna okusobola okufuna eby'enjigiriza ebiri ku mutindo ku madaala gonna ag'ebyenjigiriza.
Dayirekita wa UNICEF mu Uganda, Dr. Munir Safieldin yeebazizza minisita w'ebyenjigiriza olw'okukola obutaweera okulaba ng’ abanoonyi b'obubudamu bafuna ebyenjigiriza eby'omulembe kubanga ky’ekyobugagga ekisinga kyawadde abazadde b’abaana bano abawangaalira mu nkambi .
Ye omumyuka wakiikirira UNHCR Jason Hepps ategeezezza nti bakyalina obwennyamivu ku muwendo gw'abaana abasoma siniya n'amasomo g'eby'emikono okuba wansi ddala nga kino kyetaaga kunogera ddagala nga bukyali .