Minisitule esazizzaamu ebyapa 500 e Bulindo, Kira!

18th November 2024

MINISITULE y’ebyettaka esazizzaamu ebyapa 500 e Bulindo mu Wakiso ku ttaka eribadde likaayanirwa landiroodi n’abatuuze abagamba nti baagula.

Minisitule esazizzaamu ebyapa 500 e Bulindo, Kira!
NewVision Reporter
@NewVision
#Byapa #Ttaka #Minisitule #Kyapa #Kira #Bulindo
174 views

MINISITULE y’ebyettaka esazizzaamu ebyapa 500 e Bulindo mu Wakiso ku ttaka eribadde likaayanirwa landiroodi n’abatuuze abagamba nti baagula.

Ettaka lino liriko abantu abasoba mu 10,000 kyokka ebyapa ebyasaziddwamu biri ku poloti 24, block 182 okutudde ebyapa 500.

Japhes Mukiibi (wakati) Nannyini Ttaka N'abamu Ku Bakulembeze B'ekyalo.

Japhes Mukiibi (wakati) Nannyini Ttaka N'abamu Ku Bakulembeze B'ekyalo.

Okusazaamu ebyapa kyaddiridde Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja okulagira okunoonyereza ku bwannannyini ttaka lino eribaddeko enkaayana ezimaze ebbanga wakati wa landiroodi Japhes Wagumbulizi n’abatuuze abagamba nti baaligula ku kitaawe George William Wagumbulizi.

Ebbaluwa esazaamu ebyapa n’obwannanyini buddizibwe Wagumbulizi, Minisita Mayanja yagiwandiikidde RDC wa Kira Naboth Kagoro.

Minisita Mayanja mu bbaluwa gye yawandiise nga October 30, 2024 yalaze nti ebyapa ebyasaziddwamu tebyagoberera mitendera mu kubikola era byaggyiddwa mu bitabo omuwandiisibwa ebyapa.

Ebimu Ku Biwandiiko Mukiibi Bye Yazze Nabyo Ebiraga Obwannannyini Ku Ttaka.

Ebimu Ku Biwandiiko Mukiibi Bye Yazze Nabyo Ebiraga Obwannannyini Ku Ttaka.

Eggulo, Wagumbulizi yalaze ekyapa ky’ettaka kye yagambye nti abakaayana era ababadde bamuyita omufere kyali kya kitaawe era be baba balina obukakafu obwenkukunala obulaga nti ddala baagula mu makubo matuufu, Augyeyo Babwanje.

Yategeezezza nga ebyapa bya bantu bano ebyasaziddwamu bw'atabimanyi era Talina muntu n’omu gwe yali awadde kyapa ku ttaka lino.

Ono yalumirizza mmeeya wa Kira, Julius Mutebi Nsubuga okukulembera abakaayanira ettaka lye batalinaako bwannannyini.

Yagambye nti, Minisita yalagira amyuka kamisona w’okupunta ettaka, Vianney Lutaaya okuggula empenda era lipooti gye yakola, ye yavuddemu ekiragiro kya minisita ettaka lidde eri nnyini lyo.

“Maze emyaka 60 ku Bulindo era kwe nkulidde, tubadde tetulina buzibu bwonna na batuuze okuggyako abaakajjako era be baaleeta entalo.” Wagumbulizi bwe yagambye.

Mmeeya Ng'annyonnyola Ensonga Ku Ttaka Ly’e Bulindo.22

Mmeeya Ng'annyonnyola Ensonga Ku Ttaka Ly’e Bulindo.22

Yagasseeko nti abatuuze abali ku ttaka lino nga baalisengako mu mitendera emituufu tebalina buzibu era ebbaluwa ya Mnisita bo terina w’ebakoseza.

Ku Ssande, abatuuze baakubye olukung'aana olw’amangu nga bali ne mmeeya wa Munisipaali y’e Kira Julius Mutebi okusala entotto ku kye bagenda okuzzaako.

Mutebi yasabye wabeerewo okunoonyereza okuddamu okukolebwa ku ttaka lino. Mu April w’omwaka oguwedde, Minisita Mayanja yakuba olukiiko ku ttaka lino oluvannyuma lw’abatuuze okumuloopera nga bwe baali basulirira okugobwa ku ttaka essaawa yonna.

 

Yalagira akakiiko akanoonyereza ku buli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti akakulemberwa Brig. Henry Isoke kanoonyereze era bonna abaasangibwa nga baakola ebyapa mu ngeri ey’amankwetu bakwatibwe.

Minisita yalagira ekyapa kya Wagumbulizi kitwalibwe e Ntebe kyekenneenyezebwe era n’asuubiza abatuuze nti ssinga kinaazuulwa nga yakijingirira, yali waakukwatibwa kubanga abantu bwe batyo basaana kuggalirwa.

Kyokka, Wagumbulizi agamba nti baabayita e Ntebe era okunoonyereza okwakolebwa ne kuvaayo ng’ekyapa kye kituufu.

Minisita yalagidde RDC Kagoro okuwa Wagumbulizi obukuumi era abantu ba Wagumbulizi bagenze ku ttaka eribadde likaayanirwa ne bakubako olukomera.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.