Minisita Mayanja alaze ‘official mailo’ bwe yajja mu Uganda

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja annyonnyodde ku ttaka lya ‘Official Estate’ (Official Mailo) bwe yajja mu Uganda n’ettaka erigirimu n’atabukira abalikaayanira nga bagamba nti lyali lyabwe lya bwannannyini.

Minisita Mayanja mu situdiyo za Bukedde Fa Ma.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Dr. Sam Mayanja annyonnyodde ku ttaka lya ‘Official Estate’ (Official Mailo) bwe yajja mu Uganda n’ettaka erigirimu n’atabukira abalikaayanira nga bagamba nti lyali lyabwe lya bwannannyini.

Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuusa ku 2:30 ez’ekiro nga yabadde akyaziddwa omuweereza, TERAH KAAYA, ate bye yayogedde byawandiikiddwa Omuwandiisi wa Bukedde, WILSON W.SSEMMANDA. EKIBUUZO:Official Estates ze ziri wa mu Uganda? MINISITA MAYANJA: Kaakati bino byonna bye tuliko, njagala okubinnyonnyola ng’awuliriza amanyi nti ensonga z’ettaka okuwanvuwa kwazo kwonna ensibuko y’endagaano ya 1900.

Engabanya y’ettaka lya Uganda mu ndagaano eno ng’ejja, Omuzungu yagamba nti bwe yapima yakizuula nti Uganda yalina ettaka lya square miles’ 19000 n’obugwamu n’egabanyizibwamu wakati. Gavumenti ya Kkwiini n’etwalako 9000 n’obugwamu, ate ne Bannayuganda ne basigazaako 9000 n’obugwamu.
Omuzungu nga ly’atutte mwe muli ettaka eririko ebibira, entobazzi, amalundiro g’ebisolo n’ebirala ne liba nga liyitibwa Public Land era ne likolerwa n’etteeka lya 1903
(Crown Lands Ordinance 1903).

Naye oluvannyuma bwe baddamu okupima ne bakizuula zaali nga 8000 ne libeera wansi w’etteeka okutuuka mu 1962 Uganda lwe yafuna obwetwaze ne lissibwa wansi wa Uganda Land Commission ne lifuuka Freehold wansi w’etteeka ly’ebyettaka erya 1962. Public Land eyookubiri, ly’ettaka eriyitibwa official Estate (official Mailo).

Mu 1908 waateekebwawo etteeka eryayawula mailo eyabanga ey’omuntu ssekinnoomu ng’asobola n’okugissa mu kiraamo n’eryo erya official Estates omuli ery’amasaza.

Etteeka ly’alaga nti buli Wassaza mu Buganda yafuna official Mailo ya square Mailo munaana (8), ate buli omu ku bakuza ba Kabaka Chwa naye n’akwasibwa official mailo ya square Mailo 16 ne bawunzika nga balina obunene bwa official Mailo bwa Square Mailo 160 n’eryabwe ne ziwera 320.

Kw’ossa erya Kabaka 350. Ne bateekawo etteeka erifuga official Mailo eno lye baatuuma ‘Official estate ordinance’ 1919 nga ligamba nti buli alirina alina kulikuumira mu ofiisi gy’alimu so si lirye ng’omuntu era nga lya kusikirwa oyo aba amuddidde mu bigere. Nga si zaabwe.
Naye mu 1967 Constitution Obote bwe yategeeza nti yali aggyeewo Federo, olwo Buganda n’esigala mu zi Disitulikiti era ze zaasikira ettaka eryo wonna ne mu bitundu bya Uganda ebirala era ne kisalibwawo nti ettaka lino lyonna eriri mu Official Estates Act 1919, lyonna lidde wansi wa Uganda Land Commission n’eryo lyonna eryali
wansi wa Federal Land Board.
Mu 1969 ne bassaawo etteeka erissa bino mu nkola, erya Public Lands Act eryagamba nti buli alina ekibanja yalina okufuna ebyapa ebya Liizi ku bibanja.

Era ffe ab’e
Mityana twafuna ekyapa kya Liizi okuva mu Uganda Land Commission. Enkyukakyuka nga zizze, ne Pulezidenti Museveni azze, mu 1993, nga Uganda ebulayo akaseera katono okutongoza ssemateeka wa 1995, ne wabaawo etteeka eryayisibwa nga ligamba nti ebintu byonna ebyaggyibwa ku bantu ssekinnoomu mu ssemateeka eya 1967 bimuddizibwe. Naye eky’ennaku abantu bano baabanja ebyo ebiri Public nga bwe tuzze tubinnyonnyola.
Era tewaliwo mukulembeze wa nsikirano yaggyibwako bintu bye bya bwannannyini. Era ekiteeka kya 1993, bano bannaffe aba Mengo mwe beekweka kikwangala, kifu be ffuffululu.
Kubanga mu 1962, abafuzi ab’ensikirano baali baweereddwa obuvunaanyizibwa bwe baali balina okukola era ng’ettaka eryo lirina okukozesebwa okugatta ku Gavumenti ennene ey’awamu, so si nga bwe kiri kati.

Kati tewali mufuzi wa nsikirano ali mu ttuluba eryaliwo, nedda. Obwakabaka obwaliwo bwayiika, era tebuli nga bwe bwali, basaana okumanya amazima, bakyuke ebyo eby’ekiyaaye babiveemu baleke Gavumenti ekole emirimu gyayo so si kugitaataaganya mbu ezzeeyo ettaka eririko ebitebe bya Disitulikiti.

Kye nva nkubira abantu bano omulanga nti tebagezaako kutuddiza embeera yaliwo mu 1966, kubanga ettaka ly’abantu balibba misana nga beekwese mu linnya lya Kabaka. Kabaka asiimye ku kibanja kyo ekya yiika ttaano atwaleko ssatu, oluvannyuma akuwe ekyapa mu ngalo ekya yiika bbiri! Yii, buno
obubbi pulezidenti Museveni yabuyita lubalaato.