Amawulire

Minisita Mayanja alagidde ab'ebibanja okudda ku ttaka ly'amasiro e Wamala kwe baagobwa

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja alagidde abantu abaali bayimirizibwa okukozesa ebibanja byabwe ku ttaka ly’amasiro ga Ssekabaka Suuna II e Wamala mu Nansana baddemu okulikulakulanya okutuusa nga bamaze okubaliyirira.

Minisita Mayanja alagidde ab'ebibanja okudda ku ttaka ly'amasiro e Wamala kwe baagobwa
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja alagidde abantu abaali bayimirizibwa okukozesa ebibanja byabwe ku ttaka ly’amasiro ga Ssekabaka Suuna II e Wamala mu Nansana baddemu okulikulakulanya okutuusa nga bamaze okubaliyirira.

 

Mayanja yasinzidde mu lukiiko lweyakubye ku ttaka ly’amasiro gano ku Lwokusatu nagamba nti abantu abasoba mu 300 tebayinza kumala gasengulwa bwebatyo ku kifuba ng’ate baagula mu mateeka.

Minisita ku ttaka

Minisita ku ttaka

Yalagidde RDC we Nansana Charles Lukwago ne DPC wa Nansana Anthony Nsadha okuwa ab’ebibanja obukuumi ssaako okutangira abantu abakola effujjo n’amaanyi okugoba ab’ebibanja okutuuka ku ttaka lino.

 

Kigambibwa nti ab’ebibanja babadde basula kutebuukye olw’obwakabaka okumala ekiseera nga bwabayimirizza obutaddamu kubeerako kye bakolera ku bibanja byabwe ebiri ku ttaka ly’amasiro eriwezaako yiika 16.

 

Abatuuze baategezezza Minisita Mayanja nti ebibanja bino baabigula okuva ku Nalinnya wa masiro gano Sarah Nattu era nga abasinga bamazeeko ebanga eriwerako, nga bazze bakozesa ebibanja byabwe okutuuka bwe baayimirizibwa obwakabaka bwa Buganda.

Abantu abaali baagobwa

Abantu abaali baagobwa

Ali Bukenya nga yabadde akulemberamu banne mu ofiisi ez’enjawulo yategezezza nti mu 2013 abantu abatamanyiddwa baabalumba nebamenya ennyumba zaabwe kyokka bwebaddukira e Mengo okwekubira omulanga baabategeeza kimu tebaddamu kubaako kyebakolera ku ttaka lino era nebabasubiza okubariyirira baliveeko.

 

Bukenya yagambye nti ab’e Mengo bwebaatuuka okuriyirira basasulako abantu musanvu bokka wabula abasigadde bakanze kwewuuba nga babagumya kimu nga bwebagenda okubakolako kyokka ng’ate bafuna obubaka obubalagira okwamuka ettaka eryo.

 

“Batuogabanya era baatulagira obutabaako kye tukolera mubifo byaffe era nebatulagira obutagezaako kuzaawo nnyumba zaffe ezaamenyebwa era abamu kuffe twasigala mubbanga nga tetumanyi kiddako.” Bukenya bweyayongeddeko.


Yagambye nti balabye tebafuna bwenkanya  kwekusalawo okuddukira ewa RDC we Nansana Charles Lwanga ng’ono yeyabayambye okutwala ensonga zaabwe ewa Minisita Mayanja naye nasitukiramu okulaba ekiriwo.

 

Omutongole w’obwakabaka mukitundu kino Phillip Senyonjo yategezezza nti naye bweyamanya ensonga zino yakulemberamu abatuuze n’abatwala e Mengo bayambibwe kyokka naye kyamuggwako bwe bataamuwa budde era nabivaako.


Rdc wa Nansana, Charles Lwanga yannyonnyodde engeri ensonga zino gyezaatukamu mu offisi ye era naye nasitukiramu okulaba bwayinza okuyamba ab’ebibanja ababadde bamulajanira.

 

Yebazizza nnyo Minisita Mayanja olw’okufuna ensonga zino ate nasitukiramu nayamba ab’ebibanja kuba bamaze emyaka ming inga tebafuna bwenkanya nga buli ofiisi e Mengo gyebagendamu ebagobaganya.

Tags:
Amawulire