MINISITA omubeezi ow’ebyettaka, Sam Mayanja akwasizza abakungu okuva mu maka g’Obwapulezidenti ettaka okugenda okuzimbibwa ekkolero erivunaanyizibwa u ssayansi ne tekinologiya .
Ettaka lino lisangibwa Gunda mu Katabi Town Council nga liwezaako yiik 40 okuli n’olutobazzi.
Minisita ku mukolo yayaniriziddwa abakungu okwabadde Sheebah Kyobutungi aenda okukulemberamu omulimu guno ne Phiona Barungi okuva mu maka g’Obwapulezidenti ssaako abavubuka okuva mu Katabi Town Council, RDC w’e Ntebe Sub District, Hajji Hakim Kirigwa, bakkansala n’abatuuze.
Minisita yasoose kulambuzibwa ttaka lino oluvannyuma n’alagibwa ekifaananyi
ekisiige ekiraga ebimu ku bintu ebigenda uzimbibwa ku ttaka lino nga kujja kubaako; eddwaaliro, wooteeri, ekisaawe ky’omupiira n’ebyemizannyo ebirala, amakolero agakola essimu n’ebirala nga kyakuyitibwa National Technology Demonstration Centre .
Minisita bwe yabadde ayogera yagambye nti waliwo abaali baagala okwezza ettaka lino nga bakoze n’ebyapa wabula byonna byasazibwamu.
Yagambye nti ekifo kino kyakuwa abavubuka emirimu okuva mu kuzimba okutuusa nga kuwedde n’emirimu emirala, awatali kusosola muntu yenna