Maama nkubakyeyo gw'alumiriza okulya ssente ze azize ennyumba n'agumba ku kkanisa

Maama akyattunka ne muwala we amulumiriza okukavvula ssente ze yakola ku kyeyo nga kati maama azize ennyumba n’asiba emigu n’agenda agumba ku kkanisa ya Balokole kati w’asula.

Maama nkubakyeyo gw'alumiriza okulya ssente ze azize ennyumba n'agumba ku kkanisa
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision
#Amawlire #Kyeyo #Kkanisa #Nnyumba #Kukugumba

Maama akyattunka ne muwala we amulumiriza okukavvula ssente ze yakola ku kyeyo nga kati maama azize ennyumba n’asiba emigu n’agenda agumba ku kkanisa ya Balokole kati w’asula.

Maama Nakayima Ku Kkanisa W'asula.

Maama Nakayima Ku Kkanisa W'asula.

Maama yegaanyi okulya ku ssente z’omuwala n’agamba nti ssente zonna omuwala nga bwe yazimuwereza yazikozesa ebyo bye yamulagira era teyeegulirako wadde akawale akamusooka ku mubiri. 

Merabu Nakayima ng’akulukusa amaziga agambye nti awulira omuliro ku mutima muwala we Annet Namatovu bw’amulumiriza nti yalya ssente ze ze yapatikanira ku kyeyo mu Buwalabu okumala omwaka gumu n’emyezi 11.

Tumusanze ku kkanisa ya Pentecostal Assemblies of God e Kangulumira era nga munda mu kkanisa mwe yassa omukeeka mw’asula.

Ennyumba Omukadde Gye Yasenguseemu Ng'ayagala Basooke Kukyusa Ndagaano(1)

Ennyumba Omukadde Gye Yasenguseemu Ng'ayagala Basooke Kukyusa Ndagaano(1)

Omukadde agamba nti waliwo mulamu we mu ddya gye yazaala abaana gw’ayise Moses Mbatya eyali omukuza wa baana nga bba afudde eyamwegezaamu okumweddiza wabula bwe yamugaana kwe kumuteekako olukongoolo era y’akuma mu baana omuliro.

Nakayima agambye nti newankubadde ennyumba omuwala gye yali asibye yagiggulawo n’agiddiza nnyina, yagaanyi okugisulamu ng’ayagala ssentebe w’ekyalo Charles Kasasa asooke akyuse endagaano okwagulirwa ekifo ekyo eve mu mannya g’omuwala edde mu mannya g’omukadde.

 Annet Namatovu atubuulidde nti ye mwana wa Nakayima eyali asinga obuganzi era nga y’amulabirira wabula bwe yava ku kyeyo n’ayogera ku bya ssente olutalo we lwatandikira.

Namatovu Ku Nnimiro Y'ennaanansi Gy'alumiriza Nnyina Okukuula Muwogo We Gwe Yasimba Ku Mabbali(1)

Namatovu Ku Nnimiro Y'ennaanansi Gy'alumiriza Nnyina Okukuula Muwogo We Gwe Yasimba Ku Mabbali(1)

Bino byatandika wiiki ewedde omukadde Nakayima bwe yeekubira enduulu mu ofiisi ya Collins Kafeero avunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu n’amaka eyagendayo ne Mohammed Ssebuliba owa poliisi n’omuntu wa bulijjo ne balagira Namatovu aggulewo ennyumba nnyina ayingire era kino Namatovu yakikolerawo. 

Omukadde Nakayima ayagala endagaano eyagula ekibanja ne poloti awali enyumba eyawandiikibwa mu mannya ga muwala we Namatovu ekyusibwe edde mu mannya ge ye omukadde omutima gumutereere.

Ssentebe Kasasa agamba nti alina ekiwandiiko okuva ku poliisi y’e Kangulumira nga kimukugira obutakyusa ndagaano. 

Namatovu agamba nti nnyaabwe yatunda omugabo gwe nga kitaabwe afudde n’agutunda n’abagulira ekibanja kino wabula ate ayagala kukitunda ate ssente bwe zirimuggwaako akomewo abasumbuwe.