Lwaki RDC ne DPC e Mityana bakyusiddwa

ENKYUKAKYUKA ezikoleddwa mu batwala ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Mityana zirese abatuuze n’abakulembeze beebuuza ekigenda mu maaso.

Mityana
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENKYUKAKYUKA ezikoleddwa mu batwala ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Mityana zirese abatuuze n’abakulembeze beebuuza ekigenda mu maaso.
Mu bakyusiddwa kuliko; RDC, Africano Ahalikundira eyaggyiddwa e Mityana n’atwalibwa ku kitebe e Kampala, kyokka teyaweereddwa ofi isi yonna oba disitulikiti endala yonna, nga kati ‘ali ku katebe.’ Okusooka eby’okukyusibwa kwa Africano byabadde mu luvuuvuumo kyokka oluvannyuma yawaddeyo ofi isi nga yagikwasizza abadde amumyuka, Prossy Mwanjuzi.
Bukedde yalabye ku bbaluwa eyakyusizza Africano, nga eno yawandiikiddwa omukungu mu ofi isi ya Pulezidenti avunaanyizibwa ku bya RDC, Hajji Yunus Kakande nga 18 omwezi guno.
Mu bbaluwa eno, Hajji Kakande
yalagidde Africano aweeyo ofi isi, ate agende yeeyanjule ku kitebe kyabwe ayongere okulambikibwa ekiddako.
Wabula okuva lwe yasimbudde e Mityana tekinnamanyika ku kigenda mu maaso yadde nga talina w’awulikise nti gy’aweerezeddwa okukolera. Wabula ono agenze okuva e Mityana nga mu bitundu eby’enjawulo waliwo okumwemulugunyaako ku ngeri gy’abadde akwatamu ensonga z’ettaka. Abaakasembayo okumwemulugunyaako be booluganda mu ffamire ya Kayihura, ku kyalo Nakyerira mu ggombolola y’e Bulera abagamba nti ono yasinziira mu ofi isi ye n’asalawo by’ayagala ku ttaka lyabwe. “Yajja wano ne tutuula mulukiiko naye ng’awuliriza ludda lumu era tetwaweebwa mukisa.
Twewuunya mu kabanga katono okulaba ng’awandiise ebbaluwa ekkiriza abapunta okukuba ettaka lino kye tuwakanya,” Godfrey Ssekibuule, omu ku booluganda mu ffamire eyo bwe yagambye.
Africano era kigambibwa nti aliko abasibe abeebijambiya be yalagira poliisi eyimbule mu lunaku lumu. Bano baali bakwatiddwa omumyuka we, Mwanjuzi mu nsonga z’ettaka okuva mu ggombolola y’e Maanyi. Nga batuusiddwa e Mityana ku poliisi, abatuuze abaagoberera baabawaako obujulizi nga bwe baali babatigomya ku kyalo,
abamu ne balaga n’ebisago bye baafuna.
Wabula tekyategeerekeka nsonga yavaako poliisi okubayimbula naye nga kigambibwa nti Africano ye yalagira. Okuva lwe yakyusibwa, abatuuze n’abakulembeze babadde boogera ebintu eby’enjawulo ng’abamu baavaayo mu lwatu ne balaga essanyu Ate abadde omuduumizi wa poliisi e Mityana, Taban Swaibu naye yakyusiddwa nga naye tekinnamanyika oba alina ofi isi yonna oba disitulikiti gye yatwaliddwamu.
Mu kiseera kino DPC omulala aweerezeddwa e Mityana nga ye Ahammed Hanasura era atandise emirimu.
Ono okukakasibwa nti akyusiddwa, amaze ennaku eziwerako nga tali mu ofi isi.
 bbanga lyonna, omwogezi wa poliisi e Mityana, Racheal Kawala yagaanyi okwogera ku
nsonga za Swaibu. Wabula ensonda ezimu zigamba nti yandiba ng’aliko emisango gye yazza ng’ayinza okuba ali ku katebe, ku kitebe e Kampala