LOODI Mmeeya Erias Lukwago akoze lipooti enkambwe mw’atadde ensonga 11 ezigenda okumalawo amataba mu kibuga omuli n’okumenya ebizimbe by’abagagga okuli n'obuduuka bwa Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham bwe yayigikirizza ku mwala gw'e Nakivubo okumpi ne klezia mu Owino.
Kanso ya KCCA yatudde okuteesa ku mazzi aganjaala mu kibuga buli nkuba lw'etonnya nga gye buvuddeko gasse abantu 7.
Lipooti ya Lukwago eyasomeddwa kkansala John Mary Sebuwuufu yalaze nti ekizimbe ky'obuduuka Ham bwe yakookedde ku mwala gwa Nakivubo mu kifo ekimanyiddwa nga Jugula bulina okumenyebwa ne Ham avunaanibwe ng'amateeka bwe galagira.
Wabula lipooti yasiikudde bakkansala, abamu ne bamukontola n’okumwewuunya nti alabika alina ennugu ku bamu y’ensonga lwaki akoze lipooti egenderedde okulumya
abamu ku Bannakampala era ensonga ezimu ne bazimugobesa.
Emitendera gyonna egiyitibwamu abasaba ebyapa mu bifo omuyita amazzi giyimirizibwe era KCCA n’akakiiko k’ettaka aka Kampala District Land Board tekaddamu okufulumya ekyapa kyonna. Lipooti eraze nti abaafuna ebyapa mu bifo omuyita amazzi baggulweko emisango n’ebizimbe byabwe babimenye okutaasa Bannakampala.
Lukwago yalagidde Ham addemu aggulweko emisango avunaanibwe ne kkampuni ze mw’eyita okuzimbazimba mu kibuga ebintu ebitali ku pulaani ya Kampala.Yasabye kaliisoliiso wa Gavumenti anoonyereze ku ngeri abagagga gye bafunamu ebyapa mu ntobazzi n’engeri pulaani gye ziyisibwa nga tezigoberedde mitendera.
Ekijjukizo ky’Abajulizi okuli; St. Balikuddembe ne St. Anthanasius ku Owino, Lukwago yalagidde kifunirwe mangu ekkubo ng’Abakristuabasabirawo bwe basaba kuba ekyo kyabulambuzi kya ggwanga era kikolebwe mu bwangu ng’olunaku lw’Abajulizi olwa nga June 3, terunnatuuka. Lukwago yasabye Gavumenti efulumye ssente
ezikola emyaala eminene okuli ogwa Nalukolongo ne Kaliddubi n’okumaliriza
eminene nga ogwa Lubigi n’emirala.
Ssente obukadde bwa doola 18 ezaawereddwa minisitule ya Kampala zidde KCCA basasule abantu abalina ebibanja n’ettaka okumpi n’emyaka egivaako amataba baveewo gikolebwe.
Mu ngeri y’emu, embalirira ya KCCA ey’obuwumbi 827 eyongerweko okufuna ssente
ezikola emyala n’okumaliriza enguudo. Yalabudde abakozi ba KCCA abayamba ku
bagagga okufuna ebyapa mu ntobazzi, ku myala n’okuyisa pulaani mu bifo omuyita amazzi n'alagira baggulweko emisango.
Kanso eyabadde ey’ebbugumu, yabadde ekubirizibwa sipiika Zahara Luyirika. Kkansala
Sendi Mosh Africa yawagidde Klezia y’Ekijjukizo efunirwe mangu ekkubo. Kyokka
ames Mubiru owa Lubaga, yagambye nti ensonga yonna yamba okumalawo amataba
mu Kampala ye agiwagira era abagagga abaazimba u myala bavunaanibwe n’ebizimbe bimenyebwe.
PULAANI ZA HAM KIGGUNDU; Nga December 5 2024, olukiiko oluyisa pulaani olwa Physical Planning Committee lwayisa pulaani y’ebizimbe bya Ham nga bwe biri nti
abizimbye mu mateeka.
Ebyakakasibwa biriko emyaliiro esatu ku poloti 3 ne 4 ku Nakivubo Close era ‘minute plan’ kwe zaakakasibwa eri PPC 037- 24/5 oluvannyuma lw’okutuukiriza buli kisaanyizo. Balaze nti Ham era yalaga pulaani y’okuyonja emyala, n’akkiriziganya n’okuwa Klezia ekkubo era eyali akulira KCCA n’awandiikira Lukwago nga yejjeereza Ham