Amawulire

Looya w’Obulabirizi bwa West Buganda aziikiddwa

Looya Fredrick Matthew Mbaziira aziikiddwa ku kyalo Njeru mu ggombolola y’e Nabigasa mu disitulikiti y’e Kyotera wakati mu bakungubazi okwebuuza ekituufu ekyasse Looya Mbaziira mu bwangu.

Looya w’Obulabirizi bwa West Buganda aziikiddwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Johnbosco Mulyowa

Looya Fredrick Matthew Mbaziira yaziikiddwa ku kyalo Njeru mu ggombolola y’e Nabigasa mu disitulikiti y’e Kyotera wakati mu bakungubazi okwebuuza ekituufu ekyasse Looya Mbaziira mu bwangu.

Omubaka Haruna Kasolo Ng'abuuza Ku Maama W'omugenzi Mbaziira.

Omubaka Haruna Kasolo Ng'abuuza Ku Maama W'omugenzi Mbaziira.

Enju, Kkanso Mbaziira Gy'abadde Azimbye Ewaabwe.

Enju, Kkanso Mbaziira Gy'abadde Azimbye Ewaabwe.

Nga Basitudde Omubiri Gwa Mbaziiira Okuguziika.

Nga Basitudde Omubiri Gwa Mbaziiira Okuguziika.

Omugagga Gaster Ntakke, Bp. Balagadde Ssekadde Ne Bannaddiini Abalala Ku Mukolo.

Omugagga Gaster Ntakke, Bp. Balagadde Ssekadde Ne Bannaddiini Abalala Ku Mukolo.

Mbaziira y’abadde munnamateeka w'Obulabirizi bwa West Buganda era abadde ne offiisi ezize ku Bombo Road okuliraana ne offiisi za Bible Society

Mbaziira aziikiddwa mu makaage g’abadde azimba okumpi n’ewa kitaawe omugenzi Rev. Fredrick Semmanda era ng’ayabadde omusika wa kitaawe ono. Okuziika kwetabyeeko ebikonge ne bannaddiini.

Omugenzi alese abaana babiri.

Tags:
looya Mbaziira