Kyagulanyi yegasse ku Alice Alaso mu kuwenja akalulu e Sererere

OMUKULEMBEZE W'ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yegasse ku munnakibiina kya Alliance for National Transformation (ANT)Alice Alaso mu kunoonya ekalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Serere County .    Ekibiina kya NUP gyebuvuddeko kyalangirira nti tekigenda kusimbawo Muntu era kigenda kuwagira Alice Alaso ng'emu ku nkola y'okulaga obumu mu bibiina ebivuganya gavumenti.

Kyagulanyi yegasse ku Alice Alaso mu kuwenja akalulu e Sererere
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Bya Deo Gnnyana
 
OMUKULEMBEZE W'ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu yegasse ku munnakibiina kya Alliance for National Transformation (ANT)Alice Alaso mu kunoonya ekalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Serere County .
 
Ekibiina kya NUP gyebuvuddeko kyalangirira nti tekigenda kusimbawo Muntu era kigenda kuwagira Alice Alaso ng'emu ku nkola y'okulaga obumu mu bibiina ebivuganya gavumenti.
Alaso ng'anoonya akalulu e Serere

Alaso ng'anoonya akalulu e Serere

 
Ku mande Kyagulanyi yasiibye mu disitulikiti ye serere nga yegatiddwako bannabyabufuzi abalala okuli akulira Ekibiina kya ANT Mugisha Muntu ,Sabawandiisi wa NUP Lewis Rubongoya,Lubega Mukaaku ,Kasiyano Wadri n'abalala nga basaggula kalulu .
 
Bano bayaniriziddwa namungi w'abantu era olukungaana olwasembyeyo balukubye ku somero lya Serere Township primary School.
     Kyagulanyi yategezezza nti ekitundu Kya Teso omuli Serere kijjudemu eby'obugagga bingi ebisobola okubagaggawaza bonna nti naye tebalina Muntu asobola kubirwanirira okujjako Alice Alaso abimanyi obuluungi .
Bi 3

Bi 3

 
   Ye Alaso yebazizza abantu be Serere okumwagala ng'omwana gwebaakuza era n'abasaba bamwesige kubanga byebaagala abimanyi buluungi n'abasaba KU lwokuna bakeere bamuyiire obululu .
 
    Akulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Serere kakubaawo Ku lwokuna nga 23 oluvannyuma lw'eyakirimu Patrick Okabe okufiira mu Kabenje mu bitundu bye Palisa era ng'abantu bataano okuli owa NRM ,FDC,ANT n'abesimbyewo obwa Namunigina babiri