Bya Daphine Semakula
Omuwala Asia Babirye Namirembe naye ng'abadde ng'abadde kuyitibwa Asia, abadde asanyusa nnyo abantu ku Tiki Tok afiiridde mu ddwaaliro e Mulago ku kiro ekikeesezza olwaleero.
Ono asoose kubikibwa munnamawulire Rogers Ssebunya amanyiddwa nga SB4 mu mikutu gye era ng'ono abadde mukwano gwe nnyo.
Ono agambye nti Asia yalongooseddwa mu lubuto era teyasobodde kudda ngulu.
Asia ng’okusinga yayitimuka nnyo ku mikutu gya Tik Tok, munnamawulire ono Ssebunnya owa SB4 media bwe yamulaga ensi ku lunaku lw’abaagalala olwa Valentayini omwaka oguwedde ng’ali 'n’omulenzi we' amanyiddwa nga Charles bwe baayiwamu engoye emmyuufu ne balumya abayaaye ng’enjogera y’ennaku zino.
Bano beeraga amapenzi nga kw'otadde n'okuzina omunyigo buli omu n'asuubiza munne okumunyererako.
Munnamawulire SB4 takomye ku kufuna basomi bayitirivu olwa vidiyo Asia naye abadde amuyamba mu bintu bingi oba okumutuusa kw’abo abasobola okumayamba.
Ono okuva olwo n’abalina akawunti za Tik Tok endala baatandika okulaga vidiyo ze era nga bafuna abalabi bayitirivu.
Mu kuyitimuka muno ne Maama Fiina we yalabira Asia era n’amuzimbira ennyumba, gye bawandiikako n’erinnya lye waggulu mu kasolya era w’afiiridde ng’ali mu nnyumba ye eno nga yeeyagala.
Ono abadde ayagala nnyo okufuuwa Ekingereza era nga yeewana nga bwe yasoma ne Robert Kyanglanyi ‘Bobi Wine’ n’amuleka mu P.1 ye n’agenda mu P3.
SB4 yategekera n’abaagalana bano Charles ne Asia embaga eyasanyusa abawagizi baabwe wadde nga kirabika teyali ya ddala.
Mu bimu ku bye tugenda okujjukira ku Asia;
Eee.. Charles oli bw’akugamba Hallo mugambe nedda..
Ndi kufumbira ettooke n’ekyennyanja era manyi okufumba, ne lumonde manyi omukusaanika, n’okufumba caayi ne mussa mu fulasika. Wano ng’addamu omulenzi we Charles, eyali amubuuza oba amwagala. Kano ka vidiyo bagenya baakagegeenya nga bakola kyebayita ennaku zino challenge.
“Maama ye gwe azaala. Wangi. Olina okujja ku mbaga ne ddadi era sigenda kubaleka.
Ono ye muko agenda okuteeka wano embaga nange. Olwo galaga omulenzi we Charles eyali agenda okumuwasa. Flower Girl metulooni, 'where are you going' Bano bonna Aba Tik tok balina okwambala amakanzu balina okubeerayo’
Ono babadde bamutwala ne mu bivvulu by’abakazannyirizi ne Charles ne basanyusa abantu. Naye ng’okusinga Asia abasanyusa bw’ayogera ne ddansi gy’akoona.
Olumu yasabira Paasita Bugembe ng’amutaddeko n’emikono, afune omukyala awase wadde nga bambi afudde omukulu ona tannawasa. Ne bba yennyini Charles naye yamusabidde Mukama amukuume.
Asia asadde bangi omuli; bazadde be, abenganda ze mikwano gye n’abalala bangi ababadde balaba vidiyo ze n’abaggyako situleesi.
Wabula wadde erinnya badde alina lya Kisiraamu erya Asia naye abadde agamba lunye nti ye yalokoka era nga yettanira nnyo okusabira abantu..
Eby'okuziikibwa bijja kubategeezebwa.