KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atuuse e Boston, mu ssaza Massachusetts, ery'Amerika, ng'akyali ku lugendo lw'okulambula abantu ba Kabaka abawangaalira emitala wa Mayanja
Atuukidde mu maka g'omwami Samuel Ssenfuma agasangibwa e Chestnut Hill Massachusetts, wasisinkanidde abamu ku babadde bamulinze era n'agabulwa n'ekyenkya.
Katikkiro Mayiga
Mu kwogerako eri abantu bano,abasabye okunyweza obumu n'okukuuma obwasseruganda ng'empisa y'Omuganda bweri kubanga ekimu ku bugagga bw'Omuddugavu bwe bungi bw'abantu baakolagana nabo.
Ku lwa Famire eno, Ssenfuma yebazizza nnyo Katikkiro Mayiga okubakyalirako mu maka gaabwe n'okubalaga ekifananyi ekirungi abantu gyebalina okukolaganamu n'okukuuma omukwano.
Wano ali ne Minisita avunanyizibwa ku bantu ba Buganda ababeera ebweru,Joseph Kawuki, Omukungu Edward Kaggwa Ndagala nga y'akulira ekitongole kya Kabaka Foundation n'oweekitiibwa Kato Kajubi, omubaka wa Kabaka mu Ssaza New England eyawummula nga bano beegattiddwako Bannaddiini Rev. Emmanuel Kiwummulo ne Rev. Amos Kimera.
Nga tanagenda eno, Katikkiro yasoose kutuuzza omwami w'essaza Southern California, Arizona ne Hawaii Oweek. Fred Ssennoga Makubuya n'omumyukawe Hudson Joloba ssaako okutongoza olukiiko lw'essaza.
Kakikkiro nga bamugabula ekijjulo
Omukolo gwabadde Los Angeles mu Hotel Hilton woodland hill n'akubiriza Obuganda okukola Kabaka byabalagira awatali Ntengero era n'asaba Bannabyabufuzi okukubiriza abawagizi baabwe okunyiikira okukola bagaggawale bewale okusuubulwa abafere b'ebyobufuzi.
Omukolo ogwo ogwabaddewo nga June 8,2023 gwetabiddwako Omulangira David Kintu Wassajja,baminisita Joseph Kawuki, Mariam Mayanja Nkalubo, Omutaka Nsamba akulira ekika ky'engabi, n'abantu abalala bangi.
E Boston, Katikkiro asuubirwa okutuuza Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e New England omuggya, Henry Matovu Ndawula mu kifo kya Leero nga 10 June, ate n'okwetaba ku nteekateeka ez'okujjukira abajulizi ba Uganda nga 11 June, 2023.