Katikkiro Mayiga alangiridde olukiiko lwa Buganda land board oluggya

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde olukiiko oluggya olukulembera ekitongole ky’ettaka mu Bwakabaka ki Buganda Land Board okulaba ng'ekitongole kino kyongera okuweereza bannansi mu bweruufu.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera n'olukiikoi lwa Buganda Land Board oluggya
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga alagidde olukiiko oluggya olukulembera ekitongole ky’ettaka mu Bwakabaka ki Buganda Land Board okulaba ng'ekitongole kino kyongera okuweereza bannansi mu bweruufu.

Mayiga agamba nti ayagala kulaba ng'ensonga z'ettaka zikukutirwamu wabula buli kimu ekikolebwa mu musana nga kino kyakuyamba abantu okwetanira obuweereza bw'ekitongole kino.

Okusaba bwati abadde atongoza olukiiko olufuzi olwa Buganda Land Board e Bulange -Mmengo olunaku lwa leero  n'atendereza omulimu ogukoleddwa Olukiiko olwawummudde olubadde lukulirwa Ying. Martin Sseremba Kasekende olufudde ekitongole kino ekisinga okukola ku nsonga z'ettaka mu Uganda.

" Mu kulaba kwange Buganda Land Board ky'ekitongole ekisinga okuddukanya ensonga z'ettaka mu Uganda. Teri ofiisi ya ttaka etambuzibwa ng'ekitongole kino bwekikolamu emirimu. N'olwekyo mbasaba okulaba ng'obweruufu buno butwalibwa mu maaso abakozi b'ekitongole," Mayiga bweyasabye.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera

Katikkiro Mayiga ng'ayogera

Ayongodde n'abalagira okulondoola ettaka ly'Obwakabaka lyonna ery'enNOno neeryo eriri mu mikono gy'abantu abalala kyokka nga lya Bwakabaka.
"Buganda land Board erina okulondoola ettaka lyonna weriri mu nnono nerimanya,liyinza okuba teriri mu buyinza bwammwe kubanga muyinza okwesanga nti ettaka lya kika okugeza e Bakka mu b’effumbe.Kabaka yalagira buli kika kiteekewo olukiiko lw’abayima lubeere n’obwannanyini ku bintu by’ebika,”Mayiga bweyagambye.

 Ettaka eryo lyonna eritali mu buvunanyizibwa bwabwe basaanye okubeerako n'ebirikwatako babeere nga babirina mu ttereekero ly'ekitongole.

 Ettaka eddala Mayiga lyeyabasabye okubeera n’obumanyi kulyo, lwe lusuku lwa Kabaka(mayiro 350), ettaka ly’obwami okuli erya Namasole,Katikkiro,Nnaalinya Lubuga,ery’obuwanika,ery’obulamuzi,ery’amasaza. Ate ne mayiro 1500 ez'ebibira nga byonna bwebirambikibwa mu ndagaano eya 1900.

"BLB erina okunoonya mayiro 9000 gye kali si nsonga nti waliwo abalyegabanya. Ekyo tekyeralikiriza,ekiseera kijja kutuuka lidde mu mikono gyabannanyinniryo naye tulina okubeera nga tulimanyi weriri,gwe osobola okuggya ekintu ku muntu kyotomanyi," Katikkiro bweyagaseeko.

Mayiga yeebazizza Bammemba ku bbooddi eno olw’okukkiriza okujja okuwereeza Kabaka n’Obwakabaka okutwalira awamu kubanga bangi babeera eyo nga baagala Obwakabaka kyokka nga batya okwenyigira mu buwereeza.

Olukiiko oluggya lukulemberwa Francis Kamulegeya ng'amyukibwa Architect Robert Kiggundu. Abalala kuliko Rita Namyalo, Alex Nyombi, Rehema Nayiga Sseguya,Mariam Nansubuga,Ayub Kasule Kasujja, John Kitenda,Simon Kaboggoza, Omutaka Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende n'abalala.

Minisita w'ettaka n'ebizimbe mu Buganda, David Mpanga ategeezezza nga minisitule bagenda kulaba ng'abantu ba Buganda bongera okumanya enkola ez'enjawulo zebasobola okukulakulanyamu ettaka lyaabwe ate n'obutatya nkulakulana ebeera ereeteddwa mu bitundu kubanga abantu bangi batya nga bawulidde nti omuntu azze kukulakulanya, batya nti bagenda kugobwa ku ttaka.

Ye Kamulegeya yeebazizza Kabaka olw'okusiima n'abalonda mu buvunanyizibwa buno bwebali abeetegefu okutuukiriza.

"Ekimu ku byetugenda okukola kwe kukunga abantu bonna okwenyigira mu kaweefube w'okutereeza obusenze bwaabwe. Twagala okukulakulanira awamu kw'abantu ba Buganda bonna," Kamulegeya bweyayogedde ku lwa banne.
Mu kwogera kwe, Ying. Kasekende yategezezza Katikkiro nti kirungi enkola y'obwannakyewa agenda agiggyawo mu Bwakabaka nga na bwekityo kisaanidde alabe engeri gyayinza okusasulamu bammemba b'olukiiko luno kubanga bakola emirimu mingi gyebalina okutuukiriza.
Buganda land Board yatandikibwa mu 1994 okuddukanya ettaka ly'Obwakabaka nga mu kiseera erabirira ettaka erisukka mayiro 1000 mu bitundu by'Obwakabaka eby'enjawulo. Olukiiko olw'ekikugu lukulemberwa omukungu Simon Kaboggoza