Katikkiro atuuzizza omwami wa Kabaka e California

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asase ddoola 7000 okuva mu lotale y’e Antioch e San Francisco

Katikkiro atuuzizza omwami wa Kabaka e California
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
#Amawlire

Katikkiro Charles Peter Mayiga asase ddoola 7000 okuva mu lotale y’e Antioch e San Francisco mu ssaza ly’e California mu Amerika okunogera ekizibu kya mazzi mu Buganda eddagala.

Katikkiro mu kutuuza omwami wa Kabaka.

Katikkiro mu kutuuza omwami wa Kabaka.

Ssente zino zaamukwasiddwa Ron Parish akulira kkiraabu eno. Omukolo gw’okumukwasa ensimbi zino gwabaddewo ku Lwomukaaga nga June 3, 2023 n’ategeeza nti abantu ba Buganda okufuna amazzi amayonjo kyakuyamba okubakuumira mu bulamu obulungi.

Yasiimye bannalotale olw’okudduukirira kaweefube ono. Okufunira abantu ba Buganda amazzi amayonjo gwe mulamwa okwatambulizibwa Ttabamiruka wa Buganda Bumu North American Convention eyabaddewo nga May 26-28,2023 e Seattle.

Ekisinga obulungi, ensonga eno eri ku mwanjo mu bifo eby’enjawulo Katikkiro byazze atuukamu mu Amerika gy’ali kati.

Bannalotale mu kifaananyi eky'awamu.

Bannalotale mu kifaananyi eky'awamu.

Omwaka oguwedde ab’e Rocky mountains baasimira abantu ku kyalo Muwanga mu muluka gw’e Banda mu ggombolola y’e Maanyi e Busujju nga baawaayo ddoola za Amerika 6000 nga mu za Uganda ziri mu nsimbi obukadde 28.

Mu ngeri y’emu,  ku  Ssande Katikkiro Mayiga ng’ali wamu n’Omulangira David Kintu Wasajja, Minisita w’ettaka n’obulimi Hajjat Mariam Mayanja, Minisita avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka ababeera ebweru, Joseph Kawuki n’abakungu abalala, baatuzizza omwami atwala ekitundu kya West Coast America (omuli ebitundu nga Northern California ne Nevada), Patrick Nalikka Ssendegeya n’Omumyuka we Dr. Paul Kiruuta.

Mu kwogera kwe, Katikkiro yakubirizza Bannayuganda bano okwekolamu omulimu bafisse ensimbi era bazisige mu bizinensi gye babeera basazeewo eyo gye babeera.

Kino Mayiga yagambye nti kyakubayamba okwekulaakulanya ate nga bwe bakuuma ekitiibwa ky’eggwanga lyabwe kubanga buli omu ajja kumanya nti bizinensi eno, ekolebwa Bannayuganda.

 

Katikkiro akyatalaaga Amerika era ku Lwokusatu June 7, 2023 waakukyalira bannamukago b’Obwakabaka aba Wells of Life mu kitundu ky’e Los Angeles.

Bano Obwakabaka bwatandika okukolagana nabo okuva mu 2016 nga we lutuukidde olwaleero ng’enzizi za mazzi eziwera 700 zisimiddwa mu bbanga lino.

Ng’ali e Los Angeles waakutuuza Omwami w’essaza lino nga June 8,2023 ng’eno gyanaava okwolekera  ekitundu ky’e Boston gyanasisinkana abantu ba Kabaka okwogerezeganya ku nsonga ezitwala Buganda mu maaso nga June 10, 2023.

Ate ku lwa June 11, 2023 waakwegatta ku Bannayuganda abalala e Boston okujaguza olunaku lwa bajulizi ba Uganda ng’eno asuubirwa okwegattibwako Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere.