Katikkiro atongozza olukiiko olufuga eby'obulambuzi mu Buganda

May 08, 2024

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko olufuga ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda n'aluwa ekkattala lya bintu bina bye lulina okutandikirako. 

Katikkiro ng'annyonnyola

Dickson Kulumba
Journalist @Bukedde

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza Olukiiko olufuga ekitongole ky'ebyobulambuzi mu Buganda n'aluwa ekkattala lya bintu bina bye lulina okutandikirako.

Mayiga agambye Abakiise ku Bboodi eno nti ekimu ku byebalina okutandikirako kwekulongoosa Wankaaki w'olubiri e Mmengo n'ebimuli bya lwo. 

Omukolo gw'okutongoza Olukiiko luno gubadde Bulange-Mmengo nga Mayiga w'asinzidde n'agamba nti ebimmuli by'olubiri bino byetaagisa okulongosebwa okuva mu kifananyi kye birimu kuba biswaaza ekitiibwa ky'Obwakabaka.

Abaami ba Kabaka nga bali mu lukiiko

Abaami ba Kabaka nga bali mu lukiiko


"Mutereeze Wankaaki w'Olubiri,wabweru w'Olubiri walabika bubi kuba ndaba wabeerawo abantu bangi.

Obukomera,obumuli bukonzibye bulabika bubi. Mukunye (Ssenkulu) Akulira emirimu gy'ekitongole atereeze ekifo ekyo," Mayiga bwasabye.

Katikkiro Mayiga era abasabye okukola enteekateeka enasobozesa okutumbula obulambuzi mu Buganda, okutereeza enzirukanya y'ekitongole ki Buganda Tourism & Heritage Board wamu n'okutandika okuzimba ekkadiyizo n'ekunganiro ly'ebifananyi ery'Obwakabaka. 

" Kabaka emyaka esatu emabega yatulagira okukola ekkadiyizo n'ekkunganyizo ly'ebifananyi n'olwekyo twagala biteekebwewo," Mayiga bweyalagidde.

Ye Minisita w'obuwangwa, ennono n'Obulambuzi mu Buganda, Dr. Anthony Wamala ategeezezza nga mu buwereeza bwe ayagala eby'obulambuzi bikwatibwe nga Bizinensi era n'asaba Olukiiko luno eby'obulambuzi ebiriko okubikubako enfuufu kubanga webiri mu bungi ng'ate si byakuyiiya. 
" Eby'obulambuzi byaffe obutafanaganako n'amawanga mangi getulabye, si byakuyiyiiriza,weebiri,nandigambye nti byetaaga kukubako bukubi nfuufu,kuteekateeka bulungi tubifunemu ensimbi ate nga tukuumye n'ennono n'obutonde bwensi yaffe," Dr. Wamala bwagambye.

Katikkiro Mayiga ng'ava mu lukiiko n'abaami ba Kabaka

Katikkiro Mayiga ng'ava mu lukiiko n'abaami ba Kabaka

Olukiiko luno lukulemberwa Benon Ntambi ow'amassomero ga Royal Giants e Mityana ne Munta College e Bombo. 
Abalala ye ;- Daniel Kaweesi, John Kitenda (Omuwanika w'Enkuluze), Farouq Busulwa, Omulangira Edirisa Luwangula (akuuma ekifo Jjinja Mawuuno), Jimmy Kigozi, Claire Nassali, Allen Namuyimba, Marvin Ssebuggwawo, Justine Naluzze Ssembajjwe wamu ne Albert Kasozi ng'ono y'akulira emirimu mu kitongole kino era Omuwandiisi w'Olukiiko luno. 
Ku lwa banne, Ntambi yeyamye okutuukiriza obuwereeza era n'asaba Katikkiro akole ku nteekateeka z'okuggulawo amasiro g'e Kasubi,gagatte ku bifo by'obulambuzi byebaddukanya mu kiseera kino.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita Israel Kazibwe ng'ono yavunanyizibwa ku mawulire n'okukunga abantu saako n'abakungu abalala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});