Kateregga agamba nti, ayagala okukozesa kamyu, ku nsonga z’okuwangaala mu kisaawe, olina kufumba mirandira kyokka kyandibadde kirungi n’okusooka okugyanikako n’oluvannyuma n’ogisa okugisekula n’ofunam

Apr 27, 2024

KAMYU kaddo akalanda era bangi bakamanyiiko kubabula singa ebikoola byako bikukoona ku lususu. Wabula gye kakoma okubabula, ate n’emigaso eri obulamu okuli n’okuyamba abasajja okutereeza ensonga z’ekisenge.

Ebikoola n’ekimuli kya kamyu nga bwe bifaanana.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

KAMYU kaddo akalanda era bangi bakamanyiiko kubabula singa ebikoola byako bikukoona ku lususu. Wabula gye kakoma okubabula, ate n’emigaso eri obulamu okuli n’okuyamba abasajja okutereeza ensonga z’ekisenge.
Dr. Godwin Anywar, akulira ekitongole ky’okunoonyereza ku birime mu yunivasite e Makerere, agamba nti, Kamyu alimu ebirungo eby’enjawulo ebiyamba obulamu bw’omuntu snga omukozesa mu butuufu bwe.
EMIGASO GYA KAMYU
l Entambula y’omusaayi : Dr. Anywar, agamba nti, entambula y’omusaayi kikulu eri buli muntu. Singa omusaayi gutaataaganyizibwamu katono obuzibu bubaawo ku bitundu by’omubiri byonna, wabula Kamyu bw’omukozesa ayambako mu nsonga eno.
l Obwerinde bw’omubiri : Kamyu alimu Vitamiini C ayamba okusitula n’okuzimba obwerinzi bw’omubiri nga kino kiguyamba okwerwanako singa gubeera gulumbiddwa obuwuka obuleeta endwadde.
l Okulwanyisa sayinaasi : Hussein Kateregga ajjanjabisa dduyiro n’eddagala ly’ekinnansi ku Kateregga Physiotherapy Services, agamba nti, Kamyu alimu ebirungo ebiyamba okulwanyisa alaje naddala ezireeta sayinaasi naddala mu budde bw’empewo.
l Okuleeta amabeere: Singa omukyala azaala nga talina mabeere kuyonsa oba kukkusa mwana, asobola okukozesa ensaano ya kamyu n’ayambibwa okufuna amabeere n’asobola okuyonsa omwana we.
l Ebirungo by’omubiri : Dr. Anywar, agamba nti, Kamyu alimu ebirungo bingi eby’omugaso eri omubiri ekiyamba okukuuma omuntu nga mulamu bulungiKuno kw’ogatta ebirungo ebirala nga Calcium, Iron, Magnesium. Phosphorus, Potassium ne Sodium. Amasavu nga; Linoleic acid, linolenic acid, palmitic acid n’amalala. Bino byonna biyamba okukuuma obulamu bw’omuntu.
l Okukwataganya entambula y’omusaayi : Dr. Anywar annyonnyola nti, kanyu alimu ebirungo ebitereeza entambula y’omusaayi okumalawo embeera eyinza okuvaako okusannyalala n’obulwadde bw’omutima.
Ayamba mu kufulumya ekirungo ekiyamba okukkakkanya emisuwa olwo omusaayi ne gusobola okutambula obulungi.
l Emigaso emirala kuliko; okukendeeza okuyiika kw’omusaayi naddala singa omuntu abeera afunye ekiwundu.
l Okulongoosa ekibumba ng’ayamba okuggyamu obutwa ate n’okuyamba omubiri okwejjanjaba ng’omuntu afunye ekiwundu oba okwokebwa.

Okubabula kwa kamyu kuyamba ku ntambula y’omusajja  

Dr. Anywar agamba nti, omusajja alina okukaluubirizibwa mu nsonga z’ekisenge, Kamyu asobola okumuyamba n’addamu okutambuza ensonga kinnawadda.
Agamba nti, ayamba okutereeza ekirungo kya ‘Testosterone’, ekikulu eenyo ku basajja ku bikwatagana n’ekisenge. Okunoonyereza kulaga nti, Kamyu alimu ebirungo nga ‘liganan’ ekisobola okukwataganya ekirungo ekiwa omusajja obusobozi bw’okwegatta ne kikendeeza obungi bw’ekirungo kya ‘Testosterone’ mu musaayi.
l Okuyamba ebinywa obutagejja: Okunoonyereza kulaga nga Kamyu alimu ebirungo ebitangira ebinywa by’obusajja okugaziwa olwo omusajja n’asobola okusigala ng’atambuza bulungi ensonga z’ekisenge.
l Hussein Kateregga ajjanjabisa dduyiro n’eddagala ly’ekinnansi ku Kateregga Physiotherapy Services, agamba nti, obuzibu buno mu basajja buva ku ndwadde ez’enjawulo nga ssukaali, puleesa, yinfekisoni, ebirwadde by’obukaba, okunywa omwenge, okufuuwa sigala, okukozesa ebiragalalagala n’ebirala.
Annyonnyola nti, Kamyu ayagamba omusajja okuwangaala mu kisaawe kyokka n’okusitula obwagazi bw’okwegatta nga ne mu bakyala akola bulungi ku nsonga z’okusitula obusimu bw’obwagazi

Enkozesa ya kamyu eteekuleetere buzibu

Kateregga agamba nti, ayagala okukozesa kamyu, ku nsonga z’okuwangaala mu kisaawe, olina kufumba mirandira kyokka kyandibadde kirungi n’okusooka okugyanikako n’oluvannyuma n’ogisa okugisekula n’ofunamu ensaano.
Ate ayagala okusitula obwagazi alina kukozesa bikoola nga nabyo wandibadde osooka kubikaza. Naye bino tobyanika butereevu mu kasana okusobola okukuuma langi ya kiragala mu makoola ago ng’eno y’etereka ebirungo ebifumbekeddemu eddagala.
OBULABE BWA KAMYU
Wadde nga Kamyu alina emigaso gy’ebyobulamu ntoko, waliwo by’oteekeddwa okwegendereza nga tonnaba kumukozesa okuli; okubabula olususu singa amakoola gakukoonako ekireeta n’okuzimbazimba mu bamu.
Noolwekyo bw’obeera ne alaje y’ebirogologo wandibadde weegendereza ng’ogenda okumukozesa ate abamu bafuna okulumwa olubuto.
Mu ngeri y’emu, eri abali ku ddagala lya ssukaali, Kamyu asobola okutabula obungi bwa ssukaali mu musaayi, noolwekyo weetaaga okusooka okwebuuza ku musawo akubuulire obungi bw’olina okunywa obutataataaganya ddagala ly’oliko.
Oluvannyuma lw’okufuna ensaano, funa akagiiko k’obeera ossa ku mazzi agabuguma onywe emirundi ebiri olunaku. Wabula kikulu okwebuuza ku muku

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});