Omuvubuka awambye omwana omulenzi ow'emyaka ena, n'asaba bakadde be obukadde 6 oluvannyuma n'amutta omulambo n'agusuula mu kaabuyonjo.
Bibadde ku kyalo Naluteete muluka gw'e Kiyonga mu ggombolola y'e Kiganda e Mubende, bwe bawambye omwana Daniel Kazungu 4, ne bamutta.
Poliisi n'amagye, bakutte Emannuel Muwanguzi omutuuze w'e Kisonde mu muluka gw 'e Rwigo mu disitulikiti y'e Kibaale era n'akkiriza okuwamba omwana ono. Bamukwatidde mu Kibaati e Kansanga e Makindye mu Kampala.
Kitegeezeddwa nti abannyonnyodde ng'omwana bwe yamusse, omulambo n'agusuula mu kaabuyonjo ya Frank Rwabutariye e Naluteete era nga poliisi eguzudde leero ne baguggyayo.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti omusibe agamba nti we baamuweredde ssente obukadde 6, omwana yabadde amaze okumutta.
Kigozi ayongeddeko nti, ono, omwana yamuggye mu buliri mu nnyumba ku ssaawa nga kkumi n'emu nga bukya nga bonna beebase oluvannyuma lw'okumenya ennyumba.
Abazadde bazuukuse tebamulabako era n'abakubira essimu ng'abasaba ssente.