ABASUUBUZI n’abantu abalala mu Kikuubo mu Kampala baccamuse okulaba ku kalenda za Bukedde omwaka 2023 ne bayaayana okwefunirako kkopi
Mu balala abanyumiddwa obunyuvu bwa kalenda eno mubaddemu n’atwala poliisi ya Min Price Flavia Musiimenta ng’emuccamudde bya nsusso naye n'afunako kkopi.
Abantu nga bakennenya Kalenda ya Bukedde
Aba prestige be bavvujjirizi ba kalenda zino abakulu era mu mbeera eno abakozi ba Bukedde nga bakulembeddwamu David Mubale omu ku bakitunzi ba Vision Group baabakwasiza akalenda zino.
Yasin Kazibwe ku lwa Prestige asiimye omutindo gwa kalenda zino n'akakasa nti naakwongera okuwagira enteekateeka eno buli mwaka.