Amawulire

Gwe baabikidde Paasita we puleesa zimukubye naye n'afiirawo!

PAASITA w’Abalokole e Mukono afiiridde mu kabenje ka bodaboda. Amawulire g’okufa kwe bwe gatuuse ku kkanisa gy’abadde asumba, abamu ku bagoberezi be puleesa ne zibakuba, omu n’afa.

Gwe baabikidde Paasita we puleesa zimukubye naye n'afiirawo!
By: Joan Nakatte , Shamim Nabunnya ne David Kibuuka, Journalists @New Vision

PAASITA w’Abalokole e Mukono afiiridde mu kabenje ka bodaboda. Amawulire g’okufa kwe bwe gatuuse ku kkanisa gy’abadde asumba, abamu ku bagoberezi be puleesa ne zibakuba, omu n’afa.

Sharif Micah Allinange owa kkanisa ya House of Liberty e Seeta - Kiwanga era nga ye nnannyini ssomero lya Liberty Junior School yafudde mu kiro ekyakeesezza Ssande bwe yabadde ava e Nansana ku kkanisa ya Paasita Bugembe okubuulira enjiri.

Paasita Eyasoose Okufa.

Paasita Eyasoose Okufa.

Yabadde ku bodaboda n’etomera omukazi ku Northern Bypass ne bagwa, Paasita n’akuba omutwe ku kkoolansi n’oluvannyuma mmotoka eyabadde evaako emabega n’emulinnya n’owabboda ne bafiirawo.

Bwe baamubise ku kkanisa, amawulire g’okufa kwe gaakubye encukwe abagoberezi be, omu ku bo omukyala eyategeerekeseeko erya Harriet abangi gwe babadde bamanyi nga maama Angella, abadde atunga ekyalaani ku kyalo ky’e Nantabuulirwa puleesa n’emukuba n’afa. Ono yaziikiddwa ku Lwokubiri e Busunju.

Bukedde yatuuse mu maka ga maama Angella gye yasanze abakungubazi nga bakomyewo okuva e Busunju okuziika ne bategeeza nti okufa kwe kwavudde ku kumubikira Paasita Sharif.

 

Mu kuziika Paasita Shariff ku kyalo Giri-Giri mu ggombolola y’e Mpungwe mu disitulikiti y’e Mayuge, Omusumba Jackson Kayiira owa Lugazi Deliverance Church e Mukono yagambye nti omugenzi yabonaabona nnyo nga tannalokoka n’alowooza ku ky’okwetta kyokka yamubuulira enjiri n’okumusabira n’avaamu omuntu ow’obuvunaanyizibwa.

Mukulu w’omugenzi, Hassan Sserukaya yagambye nti bafiiriddwa omuntu ow’amaanyi era atazzikawo kubanga yaabadde taata waabwe ng’era yaabadde asomesa abaana baabwe n’okuyimirizaawo ffamire yaabwe.

Maama w’omugenzi, Margaret Nalwanga yabuulidde abakungubazi nti taata w’abaana be omugenzi Sulait Magumba yafa n’amulekera abaana bano nga bato wabula yasobola okutoba okubaggyamu wabula ekyembi abadde yaakatandika okufuna essanyu mu mwana we, Mukama n’amuyita.

Tags:
Paasita
Mayuge
Harriet