Amawulire

Gavumenti ewadde abakyala obuwumbi 80 okwekulaakulanya

ABAKYALA balagiddwa obutesamba sente za Glow ezaleetebwa okubabbulula nga bongera mu business zaabwe.

Dr.Aisha Biyinzika Kasolo akulira PSFU ng'asomesa abantu
By: Edward Luyimbazi, Journalists @New Vision

ABAKYALA balagiddwa obutesamba sente za Glow ezaleetebwa okubabbulula nga bongera mu business zaabwe.

Bino bibade ku Royal Suites e Bugolobi ebe kitongole kya Private Sector Foundation Uganda (PSFU)  bwebasomesezza abakyala okuva mu munisipaali ye Nakawa ku sente za Glow gavumenti zeyabaletera  nga byategekeddwa omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo.

Omusomo

Omusomo

Dr.Aisha Biyinzika Kasolo akulira PSFU abavunanyizibwa ku sente za Glow agambye nti nga bayita mu glow bagenda kusomesa abakyala engeri gyebasobola okukola bizinensi zaabwe mu bulungi  ate babayambeko n’okufuna akatale ke bintu oba obukugu bwebalina.

Biyinzika yagambye nti abakyala abasinga balina bizinensi naye tezawandisibwa nga kino kibaberera kizibu okutunda ebyamaguzi byabwe mu bifo ebimu, nga bayita mu pulojekiti eno bagenda kubayambako okuziwandiisa nga zirina buli ekyetagisa.

 Bino byona bagenda kubikola nga tewali sente ebaggyibwako wabula bagenderera okutumbula embeera zaabwe,era singa waberaawo eyetaaga okuwolebwa sente wakuzifuna nga bayita mu Bbnka zebakolagana nazo ku magoba nga bitundu 10 omwaka  era nga balina bajeti ya buwumbi 800.

Omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo agambye nti bagenda kusooka kusomesa bakyala bano ku ngeri gyebayinza okutambuzaamu bizinensi zaabwe.

Ye omubaka wa Pulezidenti e Nakawa Shiekh Khasim Kamugisha ye yabakutidde kwongera mutindo ku bintu byebakola bajja kufunamu,era bafeeyo okwekuuma nga balamu kubanga atali mulamu  tasobola kukola.

Abamu ku bakyala bano basabye ekitongole kino nti bwebaba babawola sente wamu n’okubayingiza mu pulojekiti zino  baleme kubateraawo misoso n’obukwakuliz

Tags: