GAVUMENTI esabiddwa okwongera okussa essira ku misomo gy’ebyemikono kiyambeko mu kumalawo ebbula ly’emirimu nga abantu bagyetandikirawo mu kifo ky’okuginoonya.
Okusaba kuno kukoleddwa Dr. Benard Akol omukugu mu masomo g’ebyemikono bwe yabadde yeetabye ku mukolo gw’okufulumya abayizi abasoba mu 100 abaasomye eby’emikono ku somero lya Midland High School e Buntaba -Mukono.
Dr.benard Akol (wakati Mu Galubindi) Ng'abuuza Ku Joyce Mugisha Omu Ku Bazadde Ku Ssomero Lya Midland High School E Buntaba Mukono
Akol yategeezezza nti ebyenfuna bya Uganda okwongera okutumbuka naddala mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu kyetaagisa okwongera amaanyi mu byemikono kubanga omuyizi agenda okufuluma ng’alina obukugu bw’afunye ng’asobola okubaako ne kye yeetandikirawo n’afunamu ensimbi.
Yasiimye nnyo Gavumenti okuvaayo n’ereeta amasomo g’Ebyemikono mu masomero ga ssekendule n’ategeeza nga kino bwe kiyambye ennyo ku bayizi mu kubaako obukugu bwe bafuna.
Yasabye abazadde okuwagira abaana baabwe be balabyemu ebitone mu byemikono kubanga kijja kubayambako mu kukyusa embeera z’obulamu bwabwe.
Ategeezezza nti buli abantu lwe bafuna obukugu mu by’emikono n’emirembe gijja kweyongera mu ggwanga kubanga tewali muntu asobola kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka anti buli omu abeera akola mirimu gye.
Akulira essomero lino, Deborah Mawejje yategeezezza nti batikkidde abayizi 146 nga bakuguse mu mirimu egy’enjawulo omuli; eby’okuzimba,okutunga engoye,okukola eby’amasannyalaze wamu n’okufumba kkeeki n’ebintu ebirala nga basomedde ebanga lya myaka 3.
Yakakasizza nti abayizi bano bakakasiddwa mu bukugu bwe bafunye kyokka n’ategeeza nti baddembe n’okuddamu okufuna obukugu obulala bwonna bwe babeera beetaaze..