Amawulire

Gav't ereese Tekinologiya wookuzza densita obuggya

GAVUMENTI emalirizza enteekateeka ez’okuleeta tekinologiya omugya agendaokweyambisibwa mu kuzza  densite obuggya

Polof. Ngoma ng’awanyisiganya endagaano ne Nagarajan Santhanam. Wakati ye minisita Babalanda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

GAVUMENTI emalirizza enteekateeka ez’okuleeta tekinologiya omugya agenda
okweyambisibwa mu kuzza obugya densite ,ebiwandiiko by’eggwanga ebirala
byonna n’okunyweza ebyokwerinda.
Tekinologiya ono atuumidwa Modular Open Source Identity Platform ( MOSIP ) okuva mu Buyindi ng’agenda kweyambisibwa okukung’anya ebikwata ku Bannayuganda bonna okuli endaga butonde, ekinkumu n’eriiso nga bino byakukozesebwa mu kuwandiisa Bannayuganda abeetaga ebiwandiiko bya gavumenti okuli densite y’eggwanga, paasipoti, pamiti wamu n’okuzza obugya enkalala z’abalonzi.
Kkampuni egenda okuzimba tekinologiya ono evudde mu India ng’eyitibwa International institute of information technology era nga bano baatadde omukono ku ndagaano ne kkampuni y’eggwanga evunaanyizibwa ku kukuba ebiwandiiko eby’ebyokwerinda eya Uganda security printing company ku mukolo ogwabadde ku ofiisi ya pulezidenti mu Kampala. Pulofeesa Muhammed Ngoma, ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Uganda security printing company yagambye nti tekinologiya ono baasooka kumukolako okunoonyereza okumala, nga yeesigika so nga wa bbeeyi ntono era Uganda ly’eggwanga erya 11 okumukozesa mu nsi yonna.
Yagambye nti aweeredwa ekiwandiiko kyonna ekya gavumenti bwe kinassibwa mu kompyuta kijja kuba kiraga ebimukwatako byonna okuviira ddala ku kifaananyi kye nga kino kya kugyawo okubuusabusa kwonna naddala mu kaseera k’ebyokulonda.
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za pulezidenti Milly Babalanda yannyonyode nti gavumenti yali yatandika dda okuzimba ekitebe ewagenda okukunganyizibwa kalonda yenna ow’ebyokwerinda akwata ku Bannayuganda wabula nga enteekateeka eno ebadde etambula kasoobo olw’okubulwa tekinologiya era ne yeebaza nnyo Pulezidenti Museveni olw’okukkiriza kkampuni eno okuyambako mu nteekateeka eno

Tags: