James William Ssebaggala okwogera bino yasinzidde mu kusaba kw’okulayiza abakulembeze mu kkanisa ku mutendera gw’Obulabirizi abakulembera ebitongole eby’enjawulo mu Bulabirizi buno ku Bishop Ssebaggala Synod Hall e Mukono.
Bano baakulembeddwa Omukubiriza w’obulabirizi n’omumyuka we, abaami abafumbo, abakazi Abakristaayo, abaawule, ababuulizi, abasajja Abakristaayo, abaana b’abaweereza, ab’ekitongole ky’omusamaliya omulungi.
Omulabirizi Ssebaggala wamu N'omukubiriza Herbert Batamye Kyobe N'omumyuka we Sarah Kigongo
Omukolo guno era gwetabiddwako Maama Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe, Bacanon, Bassaabadiikoni .
Omulabirizi Ssebaggala yabadde ayambibwako Omuwandiisi w’Obulabirizi , Rev Canon John Ssebudde wamu ne munamateeka w’obulabirizi buno, Ord Ronald Musooke.
Bishop Ssebaggala yasabye Gavumenti okulekeraawo okwefuula kyesirikidde ku miwendo gy’ebintu mu ggwanga egirinnya enkya n'eggulo ate nga balina kye basobola okukola n’okukendeeza emisolo okusinga okuleka bannansi okubonaabona.
Abadde pulezidenti w'abaami abafumbo Elly Nkulabo Ng'awaayo fayiro Eri pulezidenti Omuggya Godfrey Kyeswa. Wakati Ye Mulabirizi Ssebaggala
Omulabirizi Ssebaggala era akubiriza abakulembeze mu Kkanisa okumanya nti tebaze kuyambako Katonda wabula bbo okusitulibwa ku madaala ag’enjawulo.
Ye omukubiriza w’Abakristaayo mu Bulabirizi bw’e Mukono, Herbert Batamye Kyobe yeebaziza nnyo Omulabirizi olw’okubalayiza era n'ategeeza nti batambulira ku sipiidi ya waggulu nnyo ng’Obulabirizi, n’olwekyo mu kisanja kino basuubira okufaayo ennyo ku ndabirira y’abaweereza awamu n'ensako yaabwe era n’okumaliriza omulimu gw’okuzimba Pension House.