Abantu 17 balumiziddwa FUSO kwe babadde batambulira bw'eremeredde ddereeva waayo n'eyingira ekitoogo.
Akabenje kabadde ku kyalo Lusere ku luguudo lw'e Kasawo - Natonto mu disitulikiti y'e Mukono, FUSO eno nnamba UAY 514M bw'eremeredde ddereeva n'eyingira ekitoogo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti abalumiziddwa, kuliko Jenatia Ssebuufu 20 ow'e Kasawo, Abudhal Mugoya, Akim Odoi 6, Faziah Nakintu 23 w'e Kabimbiri, Juliet Bilabwa 24, Sadat Mujona 15, Irene Namaganda 25, Justine Nantale 39.
Abalala ye Jalia Nakanjakko 44, Specioza Nagawa 40, w'e Namuganga, Kisakye Nakaggwa 25 n'abalala.
Agasseeko nti babadde bava Kasawo era abamu batwaliddwa mu ddwaaliro e Kayunga okufuna obujjanjabi.