Fr.Kambagire akuutidde abakkiriza okweggyamu omuze ogw'okweraga nti basiiba n'abagamba nti okusiiba okutuufu kuli wakati wa buli muntu ne Katonda we mu mutima gwe.
Asabye abakkiriza okukozesa ekiseera kino okusabira emirembe mu mitima gyabwe n'ensi yonna nga beenenya n'okumanya nti omukama mwetegefu okusonyiwa buli omu nga bweyakola eri abo abakkiriza okugoberera Noah ne Yonna Katonda n'abawonya okuzikirira.