Amawulire

Eyatudde ebya S4 azadde abaana 4 omulundi gumu n'asaba okumukwatizaako

OMUVUBUKA ow’emyaka 22 nga yakoze ebigezo bya S4 eyazaala abaana bana mu mukozi w’awaka ow’emyaka 21, ezzadde limulemedde n’asaba abazirakisa okumudduukirira olw’embeera gye balimu kati.

Eyatudde ebya S4 azadde abaana 4 omulundi gumu n'asaba okumukwatizaako
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

OMUVUBUKA ow’emyaka 22 nga yakoze ebigezo bya S4 eyazaala abaana bana mu mukozi w’awaka ow’emyaka 21, ezzadde limulemedde n’asaba abazirakisa okumudduukirira olw’embeera gye balimu kati.

Derick Katikwe ow’e Bukomya mu Ggombolola y’e Manyiro mu Mayuge y’asaba okuyambibwa oluvannyuma lw’okuzaala mu Mutesi abaana 4 nga kuliko abalenzi basatu n’omuwala omu.

 Katikwe ne Mutesi baasookedde mu maka g’omumyuka owookusatu owa Katikkiro era omubaka omukyala mu disitulikiti y’e Mayuge, Hajjati Rukia Isanga Nakadama eyagulidde abaana engoye n’abawa ne ssente enkulu okutandikirako.

Wabula Hajati Rukia yasabye abawala okwekuumira mu masomero okusinga okuyingirira eby’omukwano nga tebanneetuuka. Baasabye abalina obuyambi okubuweereza ku nnamba 0700698988.

Tags:
Mutesi
Katikwe
Baana
Kukwatizaako
Bazadde
S4