Amawulire

Eyali omwami wa Kabaka aziikibwa nkya ku Lwokusatu

EYALI omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ponsiano Kawotto Ssengendo agenda kuziikibwa enkya ku Lwokusatu ku kyalo Kamuli, ekisangibwa e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso.

Eyali omwami wa Kabaka aziikibwa nkya ku Lwokusatu
By: Lawrence Kizito, Journalists @New Vision

EYALI omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ponsiano Kawotto Ssengendo agenda kuziikibwa enkya ku Lwokusatu ku kyalo Kamuli, ekisangibwa e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso.

 

Ssengendo yafudde ku Lwokutaano oluwedde, era eggulo baamusabidde Mmisa ku klezia ya St. Charles Lwanga e Muyenga, n’olumbe ne lukumibwa mu maka ge e Muyenga.

 

Olwaleero waliyo Mmisa ey’okusabira omwoyo gwe ku Lutikko e Lubaga ku ssaawa 8:00, we bagenda okuva bamutwale e Kakiri ku kyalo Kamuli gy'agenda okuziikibwa enkya ku ssaawa 10 ez’akawungeezi.

 

Ssengendo yaliko Ssaabakristu wa St. Charles Lwanga – Muyenga era Abakristu baamutenderezza olw’omulimu ogw’ettendo gw’akoze mu kuzimba Klezia y’ekigo kino empya, Ssaabasumba Paul Ssemogerere gy’agenda okuggulawo omwaka guno. Yasemba okuwaayo 1,200,000/- okuzimba Klezia eno, nga mulwadde.

 

Abakristu era baagambye nti, abadde akozesa obukugu bwe mu kubala ebitabo n’ayamba Klezia mu nkwata n’ensaasaanya ya ssente.

 

Era abadde asomesa nnyo Abakristu ku nkuza y’abaana ennungi, ng’akola nga ekyokulabirako kubanga abadde amaze emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu, era ng’agamba nti okusobola okunyweza Klezia ey’enkya, amaka gateekwa okuba nga gaggumidde.

 

Ssengendo yaliko omwami wa Kabaka mu Ssaza ly'e Busiro, era munna DP kakongoliro.

Tags:
Kakiro
Kuziika
Mwami
Kabaka
Ssaza