Amawulire

Eyalagajjalira mukwano gwe omujaasi n'afiira n’atemulwa gumusse mu vvi

FAROUK Nkada 45, omutuuze w’e Lubaga y’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’avunaanibwa ogw’okulagajjalira mukwano gwe ekyamuviirako okufa, gumusinze era alinze kibonerezo.

Ku kkono ye mugenzi Musa Ddumba bwe yali afaanana. Ku kkono ye Farouk Nkada..jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Peter Ssuuna

FAROUK Nkada 45, omutuuze w’e Lubaga y’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’avunaanibwa ogw’okulagajjalira mukwano gwe ekyamuviirako okufa, gumusinze era alinze kibonerezo.

Sgt. Musa Ddumba Mutayisa ye yalagajjalirwa era nga bino byaliwo nga January 2, 2023 mu bitundu by’e Lusaze okuliraana limbo.

Okusinziira ku Fauzia Ddumba 24, muwala w’omugenzi nga January 1, 2023 kitaawe yamusaba okugenda ewa bba e Masindi okugonjoola obutakkaanya obwaliwo wakati waabwe.

Agamba nti mu kugenda yategeezaako mikwano gye omwali ne Farouk gwe yakubira essimu ne bagenda bonna kubanga ye yali asobola okuvuga mmotoka yekka ssinga ye aba akooye era ne bessa mu ddene n’abalala okwali David Kagame ne Muhammed Kalibbala.

Yannyonnyola nti bwe baatuuka mu bintu by’e Lusaze nga bakomawo, olw’okuba yali yeebase yawulira ekintu ekikuba ku mmotoka kwe kusisimuka n’alaba abantu bangi nga bakubagana era omwo mwe yalaba ne kitaawe Ddumba ng’agudde wansi alaajana okumutaasa.

Muhammed Kalibba yategeeza kkooti nti Nkada e mmotoka baagimuweera Luweero nga bakomawo wabula bwe baatuuka e Kasubi yamulabula obutabayisa mu binnya kuba obudde bwali bugenze ate ng’eyo watera okubeerayo ababbi wabula yasigala abayisa gye baali beekengedde.

Yagamba nti olwatuuka ku limbo e Lusaze baasanga abasajja babiri mu kkubo nga beekutte kwe kumugamba nti batomere oba yimirira baveeyo tweyongereyo naye olwabatuukako yasiba mmotoka era abasajja ne bajja we baali batudde kwe kutandika okubasika mu mmotoka ne batandika okubakuba ne beegattibwako abaali banywa omwenge ku bbali.

Agamba ekyamwewunyisa ennyo kwe kulaba nga Nkada asigadde mu mmotoka ate oluvannyuma n’agisimbula wakati mu kanyoolagano mu kifo ky’okubataasa ku basajja abaali bafuuse engo.

Yannyonnyodde nti baabakuba, era Ddumba ye yasinga okukoseka n’atwalibwa mu kalwaliro ka Medi Safe e Kosovo ne babagoba okutuusa bwe yafiira e Mulago.

Nkada olwatuuse mu kkooti n'asaba omulamuzi Adams Byarugaba okuddamu okumusomera omusango era n'agukkiriza.

Omulamuzi yasabye abooluganda okwetaba mu nsala y'ekibonerezo wabula Fauzia muwala w'omugenzi wakati mu maziga yategeezezza nti "Anko nkusonyiye naye mukama y'alimanya bw'alikulamula kuba obulamu tebuddawo' era n'asituka n'afulama kkooti.

Omulamuzi yazizzaayo Nkada ku limanda e Luzira okutuusa nga July 13 lw'agenda okumusalira ekibonerezo.

 

Tags:
eyalajjalira
mukwano
omujaasi
atemulwa
gumusinze