Eyabba ssente za Gav't bamusesemezza obukadde 8!

KKOOTI ewozesa abalyake e Kololo esingisizza eyali akulira ettendekero lya gavumenti omusango gw'obukenuzi ne mulagira aliwe omukadde munaana n'emitwalo 21.

Eyabba ssente za Gav't bamusesemezza obukadde 8!
By Margaret Zalwango
Journalists @New Vision

Dannie Kasaza Turyashemererwa 63, asingiddwa omusango omulamuzi Moses Nabende n'amulagira aliwe ate asasule engassi ya bukadde bubiri bw'alemwa asibwe emyaka ebiri mu kkomera.

Turyashemererwa okusingibwa omusango omulamuzi yeesigamye ku bujulizi bw’abantu 16 nga bakulembera Ssenoga Mawano okuva mu ofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti era omulamuzi n'azuula nti Turyashemererwa yabulankanya ssente ezo bw'atyo n'amulagira aliwe.

Obujulizi bwonna bwakakasizza kkooti nti Turyashemererwa mu mwaka gw'ebeyensimbi 2015/2016 nga ye yali akulira ettendekero lya Ihunga Polytechnic Institute e Ntungamo yaabulankanya ssente 19,590,000/= ezaali ez’okukola emirimu gya mukama we.

Ssente zino zaali zaakugula ebintu okuli Type Writers, Examination Materials, Beds ne Electrical Wiring Materials eby'okukozesebwa mu kusomesa abayizi.

Omulamuzi amutegeezezza nti bwe batoddeko ne bazuula nti yabulankanya obukadde munaana n'emitwalo 21 era azisasule ate engassi agisasuliwo bw'alemwa asibwe emyaka ebiri.

Ayongedde n'amutegeeza nti waddembe okujulira mu nnaku 14, singa abeera tamatidde na nsala ya kkooti.