KKOOTI esindise omuvubuka eyabba obuwale bwa bakyala obw’omunda ssaako cakalacakala mu kkomera e Luzira amaleyo emyezi 14 abeere eky’okulabirako eri abavubuka abalowooleza mu kubba mu kifo ky’okukozesa amaanyi gaabwe okukola emirimu egiyingiza ensimbi.

Ab'amakomera Nga Batwala Kato Mu Kisweta Ekiddugavu.
Patrick Kato 23, bwe yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti y’e Kawempe e Kanyanya Damali Aguma asiimwe n’asomerwa omusango gw’okubba obuwale bw’abakyala obw’omunda, obusenya, sitookisi, keyholder, obusala enjala n’ebirala nga byonna bibalirirwamu emitwalo 93 ebyali mu dduuka lya Akello Jane.
Ono omusango yagukkirizza n’asaba kkooti emusonyiwe era asabe ekisonyiwo kuba ayagala kwogeraganya ne Jane ensonga zive mu kkooti wabula bino kkooti teyabiwuliriza ne musalira ekibonerezo.
Oludda oluwaabi lw’ategeezezza kkooti ng’omusango guno bwe gwazzibwa nga 8 April 2025 mu bitundu by’oku Kaleerwe nti era ekikolwa kya Kato kyazza nnyini dduka emabega mu byenfuna.
Omulamuzi Damali Aguma, ng’asindika Kato mu kkomera yategeezezza nti abavubuka bangi bagufudde mugano okubba era nga bangi bakeera kuteega abava okukola nga bwe gutyo Kato alina okubeera eky’okulabirako eri banne abalowooleza mu kubba ekintu ekimenya amateeka.