Eyabba essimu ya muganzi we nga bali awutu bamukalize emyezi 6 mu nkomyo
May 26, 2024
EYABBA essimu ya muganzi we bwe yali amututteko ku kaciayi bamuggalidde emyezi mukaaga oluvannyuma lw'okukkiriza omusango.
Eyabba essimu ya muganzi we nga bali awutu bamukalize emyezi 6 mu nkomyo
EYABBA essimu ya muganzi we bwe yali amututteko ku kaciayi bamuggalidde emyezi mukaaga oluvannyuma lw'okukkiriza omusango.
Reagan Okurut 23 omutuuze w'e Makindye mu Kampala y'asimbidwa mu kkooti ya LDC mu maaso g'omulamuzi Martins Kirya n'akkiriza omusango gw'okubba essimu ku muganzi we Joan Mukisa.
Okurut nga April 2 2024 ku ppaaka empya mu Kampala yabba essimu ekika kya Infinix Hot 8 nga ebalirirwamu emitwalo 50 eyali eya Mukisa.
Omulamuzi Kirya olwasomedde Okurut omusango yagukkiririzaawo era omuwaabi wa gavumenti n'ategeeza nga Okrut bwe baali bagenze ne Mukisa okufuna eky'okulya wabula bwe yasaba Mukisa amuyambise ku ssimu yabulawo bubuzi.
Bwe yabuziddwa gye yassa essimu Okurut yategeezezza nga bwe yagitunda era n'atwala n'abasirikale we yagitunda gwe yagiguza ne bamukwata kyokka n'ategeeza nga Mukisa bwe yamusonyiwa.
No Comment