EVELYN Nakabira omuyimbi era munnakatemba abadde amanyiddwa nga Evelyn Love (Lagu) aziikiddwa mu Kalungu Town Cell ekisangibwa mu Kalungu Town Council e Kalungu wakati mu miranga n'okwaziirana okuva mu bawagizi be, mikwano gye n'abakungubazi abalala.
Omuyimbi Rema Namakula ne Evelyn Namulondo nga baganzika ekimuli ku ssanduuke.
Ssentebe wa disitulikiti y'e Kalungu Ahmed Nyombi Mukiibi n'omubaka wa Palamenti owa Kalungu West Joseph Gonzaga Ssewungu mu kwogerako eri abakungubazi bategeezezza nti omugenzi bagenda kumubbulamu oluguudo olumu mu kitundu kino nga emu ku ngeri y'okumusiima okutumbula Kalungu mu ggwanga n'ensi yonna.Abakungubazi Mu Kuziika Evelyn Lagu E Kalungu.
Omubaka Ssewungu ategeezezza nti omugenzi abadde tatya kwogera gy’azaalwa n'okusinga abantu abamu nti omuli ne bannabyabufuzi abazaalibwa mu kitundu n'agamba nti mu ngeri yonna bateekwa okumusiima kibeere ekyokulabirako eri abalala.
Mulekwa nga'liko by'ayogera.
Henry Kazibwe ayogedde ku lw'ennyumba ya bagenzi Herman Ssembuusi ne Glydah Racheal Naggayi ategeezezza abakungubazi nti bazadde ba Eva bano baafa muto nnyo ne baganda be, nti ne babagabana ng'ekika nti era Eva yakulira Mityana ewa Ssenga we.
Amutenderezza olw'okukuuma empisa ze baamukuza nazo z’agambye nti zimuyambye okwerandiza mu bantu n’agamba nti kino kyeyolekedde ku mikwano egy'enjawulo egimuwerekedde.
Bataata b'omugenzi nga bamuganzikako ekimuli.
Paasita Lovinsa Namiyingo ow'ekkanisa ya Great Faith Church e Nateete omugenzi gy'abadde asabira era nga yasabye mu kuziika ategeezezza nti Eva abadde munywevu mu nzikiriza y'Obulokole ky’agambye kimuyambye okuyita mu kusoomoozebwa okw’enjawulo kw’ayiseemu naddala mu bulwadde.
Ono asabye abayimbi ne bannabitone abalala okusembeza Katonda nga bakyali balamu nti kibayambeko okukuuma empisa n'okweyisa obulungi mu bantu nga Eva bwabadde.
Bbosa Sserunkuuma ne Zubair Family nga baganzika ekimuli.
Jane Nakazibwe abadde amubeera ennyo ku lusegere mu kkanisa nga yayimbako naye mu Musterd Band ayongeddeko nti obukkiriza bukoze kya maanyi okugumya mukwano gwe ono mu bulwadde nti naddala amabegako abantu we baamubikira ennyo.
Mulekwa Fred Kasavu ategeezezza abakungubazi nti akakasa nga nnyina agenze mu ggulu olw'ebimu ku bigambo ebyasembye okuva mu kamwa ke ng'amutegeeza nti tagenda kuddamu kuyimbira nsi agenze kuyimbira Katonda.
Gen. Nalweyiso awaddeyo amabugo ga bukadde 5 era bannabyabufuzi, bannakatemba n'abayimbi ab'enjawulo beetabye mu kuziika kuno.
Abakungubazi abalala abaabaddeyo.
Bbosa ategeezezza nti Lagu y'abadde avunaanyizibwa ku by'ennyimba mu kibiina kyabwe. Lagu abadde amaze ebbanga lya myaka 6 nga mulwadde era kigambibwa nti obulwadde obumusse bwatandika mu mwaka gwa 2019.
Abamu ku babaka ba Palamenti nga beegeyaamu.
Mikwano gy'omugenzi nga baganzika ekimuli ku ssanduuke.