Abasajja abalina omuze gw’okukwatirira abakazi obubina, amabeere n’ebisambi bubakeeredde. Babakoledde etteeka mwe bagenda okubavunaanira musibwe emyaka esatu.
Ebbago ly’etteeka lino era lissiddwaamu n’ebibonerezo ku nnyambala y’abakyala eyeesittaza gattako n’abazadde abalina omuze gw’okutegeeragana n’abasajja bassedduvutto.
Ebinonerezo bino biteereddwa mu bbago ly’etteeka lya Sexual Offences Bill, 2024 erirwanyisa obukaba, ebikolwa by’okukaka omukwano n’obuliisamaanyi. Etteeka lyaleeteddwa Anna Adeke Ebaju (Mukazi - Soroti City).
Okusinziira ku tteeka, ssinga omusajja mu bugenderevu akwata ku bitundu by’omukazi ebyensonyi okuli; akabina, ebbeere oba ekisambi nga tamukkirizza, gubeera musango ogusibya emyaka esatu.
Kyokka ne bw’abeera akkirizza wabula nga tannaweza myaka 18 tekikuggyisaako musango. Ekibonerezo kye kimu kijja kuweebwa omuntu ow’obuvunaanyizibwa ku ssomero oba ettendekero anaakwatibwa ng’asendasenda omuyizi ng’amukwata ku bitundu eby’ensonyi oba okumunywegera ku mimwa.
Abakazi abeetunda abaakazibwako erya ‘Neeko’ ku William Street, Mabiito-Nateete, ku Speke Hotel n’ebifo ebirala bwe bakukwata osibwa emyaka ebiri oba okusasula 3,600,000/-. Kyokka n’omusajja agula tebakutalizza naawe osibwa emyaka ebiri.
Omuntu okukwatibwa ng’asaasaanya ebifaananyi ebiraga obwereere bwe oba obw’omuntu omulala mu lujjudde nga akabina, ebbeere oba ekitundu ky’omubiri ekirala eky’ensonyi bwe gukusinga osibwa emyaka esatu.
Ebisaasaanyizibwa ne bwe bibeera bikoleddwa nga beeyambisa kkompyuta mu ngeri y’ekifaananyi oba vidiyo era ovunaanibwa.
Ssinga ebifaananyi by’obuseegu bibeera biragiddwa mu maaso g’omwagalwa wo, owa ffamire bwe gukusinga osibwa emyaka etaano.
Kyokka singa omuntu asangibwa ng’ayolesa ebitundu by’ensonyi mu ngeri y’okutuukiriza obulombolombo oba ennono z’ekitundu ky’eggwanga mwava tegubeera musango. Era n’omukazi ayonsa omwana tajja kuvunaanibwanga.
Mu mbeera y’emu ssinga webbirira n’okwata ebifaananyi ebiraga obwereere bw’omuntu omulala n’obisaasaanya engassi ebeera ya bukadde 10, okusibwa emyaka egitasukka etaano oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
Ate singa okwatibwa ng’osaasaanya ebifaananyi by’eyali balo oba mukazi wo oba muganzi wo ekibonerezo kibeera kya kusibwa emyaka 10.
Ate singa omukozesa obeerako obubaka obusaba omukwano bw’oweereza omukozi oba gw’osuubira okukozesa ng’omusaba akuganze ng’akwakwakkulizo k’okumukolera ekintu ky’ayagala oba omusomesa ku muyizi osibwa emyaka egitasukka 10, okusasula obukadde 20 oba okuweebwa ebibonerezo byombi.
Obubaka obusendasenda busobola okuba mu bigambo, mu buwandiike, oba ekifaananyi era bw’obeera mukozi wa Gavumenti obeera olina okufiirwa omulimu.