Enkungula ya kooko ekuuma omutindo

May 25, 2024

OMUBISI oguva mu nsigo za kooko gwa bulabe eri ettaka era w’oguyiye omuddo gwonna gukala. Noolwekyo mukung’aanyize mu kifo kimu, w’obeera omukubira oleme kusaanyaawo nnimiro yonna.

Henry Lwanga ne mukyala we Harriet nga banjala kooko ku kitandaalo

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

OMUBISI oguva mu nsigo za kooko gwa bulabe eri ettaka era w’oguyiye omuddo gwonna gukala. Noolwekyo mukung’aanyize mu kifo kimu, w’obeera omukubira oleme kusaanyaawo nnimiro yonna.
Joseph Mulindwa, omunoonyereza ku by’okugatta omutindo ku kooko n’ekitongole kya National Coffee Resources Research Institute e Kituuza, agamba nti ng’omaze okunoga amabeere (ebibala) bya kooko, n’omussa ku ttundubaali, funa ekiti ky’omukubisa okuggyamu ensigo nga tezoonoonese.
“Si kirungi okukozesa akambe oba ekiso okutema mu kooko kuba oyinza okutema mu nsigo n’ozoonoona. Kozesa ngalo okuggyamu ensigo. Eno y’ensonga lwaki olina okukuuma kooko nga muyonjo okukuuma akawoowo ka cokoleeti,” bw’agamba.
Okubikka ensigo entuufu
Omutendera guno mukulu mu kutuusa ensigo za kooko ku mutindo ogwetaagibwa ku katale. Wano kooko w’afunira akawoowo ka cokoleeti. Wano era, olina okusunsulamu ensigo enfu.

Ba Lwanga nga bakyusa kooko okuva mu bookisi emu okudda mu ndala.

Ba Lwanga nga bakyusa kooko okuva mu bookisi emu okudda mu ndala.


Waliwo enkola ey’okukozesa bookisi, okukola entuumu n’abalala bakozesa ebisero, obukutiya n’ebirala. Mulindwa agamba nti enkola ya bookisi erimu ebituli gye bakubiriza abalimi okukozesa.
Henry Lwanga, omulimi wa kooko e Kasawo mu Mukono agamba nti kitwala ennaku 7-8 ng’omukyusa buli luvannyuma lwa nnaku bbiri abadde wansi n’adda waggulu. Wano babeera ne bookisi nnya ezissibwa mu ngeri y’amadaala ng’ensigo zisookera mu bookisi ya waggulu olwo ne zigenda nga zikyusibwa okussibwa mu bookisi eddako wansi.
“Mu kiseera we tumubikkira, abeeramu amazzi 100 ku 100, ennaku omusanvu we ziggweerayo abeera ku 55 ku 100. Ennaku ebbiri ezisooka kooko abeeramu n’ebbugumu lingi nga lino lye limufumba n’aggya bulungi era nga kubeerako obubu nga buno bulungi ku mutendera guno,” bw’agamba.
Mu nkola y’okutuuma kooko, osala endagala n’ozaalirira ku ttaka olwo n’oyiwako ensigo za kooko ng’ozituuma wamu era n’oddamu n’obikkako endagala n’ekiveera oba ettundubaali okukakasa nti ebbugumu likuumibwa.
Bw’obeera okozesa bookisi, kakasa bookisi eyo ejjudde oba ebulako kimu kya kusatu okujjula kimusobozese okukuuma obulungi ebbugumu olwo obuwuka bwa ‘Yisiti’ busobole okumenya obubisi okuva ku nsigo omubisi ne gufuuka omwenge.
Oluvannyuma obuwuka bwa lakitiki (Lactic) asidi ne butandika okulya omwenge oguzaaliddwa yisiti nga bwe buzaala ekirungo kya asetiki (acetic) asidi ekizaala ebbugumu. Kino kiyamba okutta ensigo nga tekyamera olwo n’efulumya emmere eyandibadde ekozesebwa mu kumera olwo n’ekyuka okuva mu kakobe okudda mu kitaka n’okufuna akawoowo ka cokoleeti.
Aba NaCORI baliko bookisi gye bayiiyizza. Eno nnyangu ya kukozesa ne bw’abeera mwana muto, omukadde oba aliko obulemu asobola okugikozesa nga weetaaga kunyoola olwo munda ensigo ne zeetabula,” bw’agamba.
Ng’oggyeeko obwangu kooko atuuka okwanika mu nnaku nnya zokka okwawukana n’enkola endala ezeetaagisa ennaku ezisoba mu 10.
Wabula bookisi eno ekyali ku mutendera gwa kugezesebwa era ng’ekozesebwa abalimi abatono kuba esobola okubikka kkiro 50-70.
Okwanika
Mulindwa agamba nti oluvannyuma lw’okumaliriza okubikka kooko, tomwanikirawo mu musana gususse kuba asetiki asidi agenda kusigalamu ekigenda okwonoona omutindo gwe noolwekyo sooka omwanjale mu kisiikirize olwo akawewo kayitemu kafuuwe asidi ono n’oluvannyuma omwanike mu kasana akale.
“Kakasa nti kooko omwanika mu kifo ekiyonjo era nga tewali buwoowo bulala ng’ekiraalo ky’ente, ekiyumba ky’enkoko, taaba, eddagala ly’ebisolo oba ebirime ebirala kuba kooko asika obuwoowo obumuliraanye, ogenda okumutunda ng’akawoowo ke tekategeerekeka,” bw’agamba.
Lwanga agamba nti, kooko asaanira kwanikibwa ku katandaalo oba ku ttundubaali okutuuka ng’atuuse ku bitundu 7 ku 100 eby’amazzi. Ono y’akkirizibwa okutwalibwa ku katale k’ebweru era olina okumulondamu buli kitali kooko.
Wano kooko wandibadde omutunda kuba gy’okoma okumutereka n’okupunguuka ng’ayogera okukala, okusikiriza ababbi ate n’okwonooneka omutindo kuba ayinza okusika obuwoowo obubi.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});