Endowooza enkyamu lwe yeekiika mu kuzimba

May 25, 2024

WALIWO abantu abalina obusobozi bw’okuzimba ennyumba naye nga bakyalemedde mu bupangisa olw’endowooza oluusi ze babeera nazo.

Bw’otabeera mumalirivu ennyumba ng’eno eyinza okukulema okumaliriza.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

WALIWO abantu abalina obusobozi bw’okuzimba ennyumba naye nga bakyalemedde mu bupangisa olw’endowooza oluusi ze babeera nazo.
Yinginiya Vicent Katende owa Treasure Consults agamba nti abantu bangi bamaanyi ng’ekibalemesezza okuzimba bye bikwate. Waliwo gwosanga ng’amanyi poloti erina kubeera ya ffuuti 50 ku 100 ate obuzibu nga talina ssente zaayo. Poloti eya ffuuti 50 ku 50 egyamu ennyumba y’ebisenge ebisatu n’ofissa n’ekifo woosimba emmotoka.
Waliwo abantu abalowooza nti pulaani y’ennyumba gabeera malya ga nsimbi. Ne bwe bafuna pulaani ate bwe batuuka okuzimba babivaako ne bakola byabwe, nga balowooza nti ke baafuna ebipapula kyaggwa. Katende agamba nti abantu bangi tebakimanyi nti n’okuzimbisa seminti nga si wa bipimo bituufu kyabulabe eri ekizimbe.
Bruhan Kamya omuzimbi w’e Lungujja agamba nti tewali kintu kimutawaanya ng’abagagga abalowooza nti balina obukugu mu by’okuzimba okusinga  abaabisoma. Baagala basalewo ku ntabula ya seminti n’enkozesa y’emitayimbwa mu bukyamu. Yinginiya Fred Maggwa owa Maggwa Construction Consultants agamba nti abantu abamu balowooza buli mukugu abeera amanyi buli ekiri ku nnyumba. Yinginiya azimba
ayawukana ku mukubi wa pulaani. Owamazzi abeera wa njawulo ku w’amasannyalaze ayisaamu waya era n’omuzimbi ayawukana ku mukomerezi. Entabula ya seminti ey’ekikwate nayo eriko obuzibu. Waliwo abamanyi nti akasawo ka seminti akamu, katabula wirubaalo z’omusenyu ssatu. Kino si kituufu kuba ebipimo ebiri ku kasawo
bwe bibeera 1:3 kibeera kitegeeza nti akasawo akamu kagendamu omusenyu ogwenkanaawo gwa mirundi esatu.
Ennyumba okubeeramu olukuubo kirungi naye si kya tteeka era tekyetaagisa ku buli nnyumba. Kyokka bannannyini mayumba obasanga balemeddeko nti baluteekemu ekibaviirako okwongera ku bungi bwa bbulooka, seminti, omusenyu n’obukozi.
Waliwo abatandika okuzimba nga tebalina ssente zimala. Mu kifo ky’okusima omusingi
ogutamalaayo nnyumba yonna ne bazimbako ekitundu balemerako ne basima omusingi gw’ennyumba ennene ssente ne zibaggwaako olwo nga bagamba baabasiraanya.
Jaliat Namukose e Kireka yagambye nti baali bamulemesezza okusima kaabuyonjo okuggwa, nga bamugamba nti eyagitandikako y’ateekeddwa okugimaliriza. Yakanda kulinda musimi nga takomawo ekyamutuusa n’okuzza ssente mu birala. Waliwo abalina endowooza nti okuzimba olina kusooka kukung’anya ssente za wamu. Omuntu ayinza okunoonya obukadde 20 obwawamu atandike okuzimba ne zimubula okumala emyaka esatu ate nga singa abeera yatandika n’obutaano bwalina yandibadde yayingira dda.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});