Embeera ya Ssegirinnya ewa essuubi

Apr 27, 2024

EMBEERA y’omubaka Muhammad Ssegirinya (Kawempe North) ezzaamu abawagizi be amaanyi bw’atandise okutambula, okulya era n’asaka n’omubiri

Fatumah Nakayima gwe babbako omwana ne Seith Nim

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

EMBEERA y’omubaka Muhammad Ssegirinya (Kawempe North) ezzaamu abawagizi be amaanyi bw’atandise okutambula, okulya era n’asaka n’omubiri.
Pulezidenti w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi yatadde ekifaananyi ku mukutu gwe ogwa X (eyali twitter) ng’ali ne Ssegirinya mu ddwAaliro lya AghaKhan Hospital e Nairobi bwe yabadde amukyaliddeko okulaba embeera gy’alimu.
Kyagulanyi yategeezezza nti embeera ya Ssegirinya yamusanyusizza kuba yamusanze takyali mu kasenge omujjanjabirwa abayi, ng’asobola okwetambuza yekka era ng’asobola okulya. Kino si bwe kyali wiiki ntono eziyise.
Alex Luswa Luwemba, omuyambi wa Ssegirinya yategeezezza Bukedde nti omubaka yasanyuse nnyo olw’okulambulwa mukama we gwe yabadde tasuubira.
Luwemba agamba nti mu kiseera kino Ssegirinya yeeyongedde okuba obulungi era ng’ayongedde n’okusaka omubiri n’aweza kkiro 55. Mu kiseera kino atambula yekka ne yeetooloola eddwaaliro era nga n’okulya alya bulungi.
Kyokka amaanyi gakyali matono mu mubiri, naye ng’abasawo baabagumizza nti gajja kudda mpola bw’anaagendera ku mateeka ge baamuwadde ku by’okulya n’okukola dduyiro ow’ekigero.
Mu kiseera kino bawulira ng’embeera omulwadde gy’alimu ebasobozesa okusiibulwa, naye obuzibu bakyalina ebbanja ly’eddwaaliro. Kkaadi ya yinsuwa kwe babajjanjabira yaggwaako ssente era balinze Palamenti kubateeramu ssente ndala olwo balyoke basiibulwe.
Ssegirinya yaddusibwa mu ddwaaliro lya AghaKhan nga January 9, 2024 ng’embeera mbi era baamutuusiza mu kasenge k’abayi

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});