Eggwanga lya Bufalansa lyongedde amaanyi mu kusomesa Olufalansa mu Uganda

OMUMYUKA w’akulira ettendekero lya Makerere Business School (MUBS) Polof. Moses Muhwezi akuutidde abakozi okuyiga ennimi ezeeyambisibwa mu busuubuzi okusobola okuvuganya ku katale k'ensi yonna. 

Eggwanga lya Bufalansa lyongedde amaanyi mu kusomesa Olufalansa mu Uganda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Lufaransa

Bya Sharon Nabasirye 

OMUMYUKA w’akulira ettendekero lya Makerere Business School (MUBS) Polof. Moses Muhwezi akuutidde abakozi okuyiga ennimi ezeeyambisibwa mu busuubuzi okusobola okuvuganya ku katale k'ensi yonna. 

Bino Muhwezi abyogeredde ku ttendekero lya MUBS ng’ekitebe kya Bufalansa kitongoza okusomesa abayizi n'abasomesa olulimi Olufalansa, ng’omukolo gwabadde Nakawa ku MUBS.

Muhwezi agambye nti, abaana bangi ensangi zino beeyunidde okugenda ebweru okukola naye baba bajja kukaluubirizibwa singa baba tebongera ku nnimi ze bamanyi, ng’abakozi bonna kibagwanidde okumanya ennimi ezeeyambisibwa mu busuubuzi mu mwanga ag’enjawulo. 

Ye eyakiikiridde omubaka wa Bufalansa, Yvier Mercies  agambye nti mu nnimi ezikozesebwa mu Africa , olulimi Olufalansa lukwata kyakusatu nga waliwo Olungereza n'Oluswayiri. 

Yvier akakasizza nti Olufalansa lwakweyambisibwa mu kukola obusuubuzi kubanga Uganda yeetooloddwa ensi ezoogera Olufalansa omuli; Burundi ne Rwanda nga  ne DR. Congo nayo eri mu nteekateeka eyeegatta ku mukago gw'amawanga g’obuvanjuba bwa Africa ng’awo wasinzidde ne yeebaza amawanga g'omukago gw'amawanga mu buvanjuba bwa Africa olw'okwetaaya mu kisaawe ky’ebyobusuubuzi .