EBY’OKULUMBA ofiisa wa poliisi Faridah Nampiima ne batta omukuumi babiyingizzaamu abanene b’abadde akola nabo abateeberezebwa okuba mu lukwe.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti bambega ku poliisi e Katwe abanoonyereza ku ttemu n’obulumbaganyi obwakoleddwa ku maka ga Nampiima e Kabowa, lulabika lwabadde lukwe kubanga alina akakuubagano kaabaddemu n’abamu ku bakamaabe.
Akakuubagano kano bye bimu ku binoonyerezebwako okuzuula oba waliwo akakwate ku bulumbaganyi obwakoleddwa.
Ekiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, abazigu baalumye ku nnyumba
z’omugenzi Kasaato mu Ssimbwa zooni, Nampiima waapangisa ne bakuba Ssaalongo Matia Kintu abadde akuumawo oluvannyuma n’afiira mu ddwaliro e Mulago.
Obulumbaganyi buno bwagenze okubeerawo nga waakayita ennaku ntono nga Nampiima aggyiddwa ku ky’omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga ku bigambibwa nti abadde alina baserikale banne baakola nabo bwe babadde beekobaana okucanga kompyuta ne basangulamu ebipapula by’engassi poliisi byewa abamenya amateeka g’oku luguudo.
Kigambibwa nti kino babadde bakikoze okumala ekiseera era we baatuukidde okubanoonyerezaako nga ssente ezaakabulankanyizibwa mu ngeri eno ziri mu buwumbi.
OCHOLA ATADDEWO AKAKIIKO
Eggulo omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti okuteekawo akakiiko kano kyaddiridde okufuna okwemulugunya nti waliwo Abaserikale abalina okuyingiza ebikwata ku lisiiti eziweereddwa ebidduka nga zirina okusasula engassi wabula ne batakikola.
Yagambye nti omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola yataddewo akakiiko kanoonyereze ku mivuyo egyetobese mu kitongole kya poliisi y’ebidduka
naddala mu ofiisi evunaanyizibwa ku kulondoola ebidduka ebirina okusasula engassi.
Eno ye ofiisi Nampiima gy’abadde akulira wabula kati yakyusiddwa. Kino kiddiridde
abakugu okwekenneenya ebitabo ne ssente eziva mu lisiiti eziweereddwa ebidduka ebimenye amateeka g’oku nguudo ne bakizuula nti lisiiti 22,610 ezibalirirwamu obuwumbi busatu n’ekitundu tezirabikako.
Enanga yagambye nti obutayingiza lisiiti ezimu mu nkola eyateekebwawo kyavuddeko okufuna obuzibu n’obutakwatagana mu miwendo ekitongole ekikung’aanya emisolo gye kirina.
Akakiiko akaateekeddwawo okunoonyereza kuliko abaserikale okuva mu kitongole ekinoonyereza ku misango (CID) n’ekikessi (Crime Intelligence) nga be banazuula nga beenyigira mu kubulankanya ssente zino bavunaanibwe.
Yagambye nti era waliwo okwemulugunya okwavaayo nga kulaga nti waliwo abaserikale abaludde nga bakola emivuyo mu ofiisi ezivunaanyizibwa ku kugaba lisiiti z’engassi nga kino kye kyavuddeko okukyusa ASP Farida Nampiima n’asindikibwa mu ofiisi y’omwogezi wa poliisi, SP CLaire Asasire ne SP Sylivia Auma ne basindikibwa ku kitebe e Naguru nga bwe balinda okutumibwa emirimu emirala.