Eby’okukwata Trump bitadde America ku bunkenke

OBY’OKUKWATA eyali Pulezidenti wa America, Donald Trump bitadde America ku bunkenke.Abawagazi be ng’abasinga Bazungu bannalukalala bwe bakuhhaanidde mu makaage mussaza ly’e Florida ne balabula nti, omuntu yenna amukwatako bagenda kufaafaagana naye.

Donald Trump
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBY’OKUKWATA eyali Pulezidenti wa America, Donald Trump bitadde America ku bunkenke.
Abawagazi be ng’abasinga Bazungu bannalukalala bwe bakuhhaanidde mu makaage mu
ssaza ly’e Florida ne balabula nti, omuntu yenna amukwatako bagenda kufaafaagana naye.
Wakati mu kuwera okufaafaagana n’omuntu aneehhanga okukwata ku Trump, abawagizi be abeeyita MACA (Make erika Great Again) beesonzeemu doola akakadde kalamba n’ekitundu (mu za Uganda obuwumbi nga bubiri n’obukadde 500) ne bazimuwa okusasula balooya abagenda okumuwolereza mu kkooti.
Embeera eno ewalirizza abaddukanya ekibuga New York okuyiwa poliisi okunyweza ebyokwerinda naddala ku kizimbe kya kkooti we bakolera okubuuliriza ku Trump olw’ekyabadde kisuubirwa nti singa basalawo okukwat Trump abantu baabadde ba
kwekalakaasa. Eby’okukwata Trump biyingiziddwaamu n’ebyobufuzi, bannakibiina kya Republican nga bakuliddwa omubaka Rand Paul bwe baalumirizza ab’ekibiina kya Democrat okukozesa obubi obuyinza okutuuka okwagala okukwata abadde Pulezidenti wa America.
Okuva ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde Trump abadde akunga abawagizi okuyimirira
naye ng’alumiriza nti, waliwo pulaani ekoleddwa okumukwata kubanga aba Democrat
bamutidde okubawangula mu kalulu ka 2024 nga kati baagala okumujwetekako emisangon’ekigendererwa okumulemesa okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu akanaabeerayo mu 2024.
Enkambi ya Trump erumiriza omuwaabi w’emisango gya Gavumenti owa disitulikiti y’e Manhattan, Alvin Bragg nti munnakibiina ya Democrat eyakoze olukwe olw’okumukwata ng’amuyungako omusango mbu yasasula malaaya obutitimbe bwa ssente okusirikira ebyama.
Okuva olwo abawagizi ba Trump bazze batiisatiisa okwekalakaasa singa omuntu
waabwe akwatibwa ne bakissa ku Gavumenti ekulirwa Joe Biden okwagala okulemesa Trump okuvuganya mu kalulu akabindabinda.
Ttiimu ya bambega n’abawaabi b’emisango bamaze emyaka ng’ebiri nga bakuh−
haanya obujulizi ku Trump okumala ebbanga ku bigambibwa nti yawa omuwala malaaya Stormy Daniels enguzi ya mitwalo gya doola 130,000 aleme kwogera nti
yamugulako mu 2006.
Daniels agamba nti, Trump ng’ayita mu muyambi we, yamusindikira ssente ezo
oluvannyuma lw’okukizuula nti singa Daniels yayasa ekyama ekyo mu kiseera nga wasigadde olunaku lumu okulonda kwa 2016 kubeewo kyali kya kusuula Trump mu kalulu kwe kumuwa enguzi eno asirike ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka ga
America.
Kigambibwa nti obujulizi obusembayo bwabadde bwa kuwulirwa ku Lwokusatu lwa
wiiki eno olwo Trump akwatibwe kyokka baalabidde awo nga babayimirizza olw’okutya ekiyinza okuddako singa Trump akwatibwa. Ensonga eno yakwasisa
n’okusibya eyali looya wa Trump, Michael Cohen olw’okuzza emisango egyenjawulo omuli n’okugaba ssente ezaamuweebwanga mukama we Trump balyoke bawangule munna DP, Hillary Clinton mu kalulu akaalimu vvaawompitewo.
KIKI EKINAABAAWO SINGA TRUMP BAMUSSAAKO EMISANGO
Singa Bragg aggulawo emisango ku Trump aba ajja kumutegeeza mu butongole bakkaanye ku Trump lw’anaagenda mu kibuga New York akwatibwe era atwalibwe mu kkooti okusomerwa emisango gye omulundi ogusooka.
Kyokka ensonda endala zigamba nti Trump bw’anaaba wa kukwatibwa, ajja kweyambisa ennyonyi ye egwe ku kisaawe ekimu mu New York olwo akozese
emmotoka okutuuka ku kkooti kimalewo okujagalaza abantu okwandibaddewo
singa bamukwata mu lujjudde.
ALINA OMUKISA OKWESIMBAWO KU BWAPULEZIDENTI?
Abakugu bannyinnyodde nti ne bw’anaggulwako emisango oba ne bwe ginaaba gimusinze, tekijja kulobera Trump kwesimbawo ku Bwapulezidentissinga anaaba ayagadde.
Ng’okusinziira ku by’azze ayogera biraga nti si wa kuva ku mulamwa gwa kwesimbawo addemu afuge ku Amerika.
Mu mateeka ga America , omuntu ne bw’aba musibe akkirizibwa okwesimbawo era aweebwa olukusa okukubirayo kkampeyini.
Kyokka abalala bagamba nti singa Trump akwatibwa kiba kijja kumuyamba okwongera
okufuna abamuwagira kubanga bangi baba bajja kuba bamulaba ng’anyigirizibwa, bamukwatirwe ekisa bamuwagire.
Bino we bijjidde nga Trump akyanoonyerezebwako akakiiko ka Palamenti ya America akassibwawo okubuuliriza ku buvuyo obwaliwo nga January 6, 2021 Trump bwe yakunga abawagizibe okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu nga Joe Biden awangudde akalulu ekintu Trump kye yawakanya ng’agamba nti akalulu ke baakabba.
Akakiiko akateekebwawo okunoonyereza kaakuhhaanyizza obujulizi okuva ku bajulizi 1,000 okuzuula ani eyakuma omuliro mu bantu era ani avunaanyizibwa ku bulumbaganyi obwakolebwa ne bufiiramu abantu bataano n’okulumya abaserikale 140 ne balumizibwa.
Palamenti yagenda okuyisa ekiteeso okuggula emisango ku Trump nga baakakwata abantu 900 ku by’ekuusa ku kwekalakaasa kuno n’okulumba palamenti ya America.
Emisango egiggulibwa ku Trump n’abantu be kuliko; okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa, okugezaako okulemesa emirimu gya Gavumenti egikolebwa mu mateeka n’okwekobaana okwagala okuggyako Gavumenti ya America
ekiyinza okwefaanyiriza okwagala okulya mu nsi olukwe. Trump yalangirira dda nti ategeka kuddamu kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2024 era agamba nti abamuggulako emisango n’okuttukiza ebyayita bali mu kusattira kubanga baakizuula
nti abasinza amaanyi kubanga abantu bamwagala era bamuwagira olw’ebyo bye yabakolera