OMUSAJJA Peter Bakka okumukuba amasasi agaamusse, baasoose kumulondoola okumala ekiseera, oluvannyuma lw’okuva mu kkomera omwezi oguwedde, ate n’addamu okubba. Banne babadde baamukazaako ‘DPC Kasolo’ olw’obukugu bw’abadde akozesa mu misoni z’okubba ababa bava mu bbanka ne ku mobile money, n’abatambuza ssente ennyingi.
Amasasi, baagamukubidde Nansana ku Masitoowa awagambibwa nti w’abadde asinziira okukola misoni z’okunyaga abantu mu Kampala, Wakiso ne Mukono. Kigambibwa nti Bakka ye yatandika akabinja ak’omutawaana ennyo mu kitundu kya Nansana, Nabweru ne Kawempe akayitibwa ‘Kasolo Group’ era we baasinziira okumukazaako erya Kasolo. Mu kabinja ako, nti mwe yazimba ekibinja ekirala ekibba ababa bava mu bbanka ne ku ‘mobile money’ oluvannyuma lw’okukizuula nti be baateeganga mu Kasolo Group, olumu tebaabeeranga na ssente zeegasa era ng abwe banyaga obusawo, olumu basanga bukalu!
EBIZUUSE KU BAKKA GWE BASSE
Okusinziira ku poliisi, omugenzi abadde anoonyezebwa ku bulumbaganyi obwakolebwa e Kamwokya okumpi n’oluguudo lwa Mawanda Road nga July 7, 2021, ye ne banne bwe baasalako Omuchina ayitibwa Jiwan Lal, nga bali ku pikipiki ne bamubbako ssente obukadde butaano era mu katambi ka kkamera z’oku nguudo, yoomu ku balabikiramu. Omusango guno guli ku fayiro CRB 548/ 2021.
Waliwo fayiro endala nnamba CRB 930/2021, eri ku poliisi y’oku Kira Road, Bakka ne banne mwe bagambibwa okuba nga babba obukadde 30 ku nkulungo y’e Kabojja okumpi n’oluguudo lwa John Babiha, Kololo III. Kigambibwa nti ssente baazibba ku Charles Okot. Ddiiru endala yagirimu ne banne abaamulumiriza okwali; Badru Kamukama amanyiddwa nga Mulema Pancho, n’abalala.
Mu misoni endala, Bakka eyattiddwa ng’ali ne banne ne banyaga essimu ekika kya iPhone n’emitwalo 50 okuva ku Sarah Nabadda ze yali yaakaggya ku ‘mobile money’. Fayiro ze endala ziri ku poliisi y’oku Jinja Road okuli; SD:27/ 02/2019, SD: 23/30/08/2019, ne SD:04/09/2019, nga gya bunyazi.
Bakka era kigambibwa nti yasika essimu ku yinvesita Omuchina ng’ebalirirwamu obukadde busatu ne ssente enkalu emitwalo 80 era baamutaayiza bakozesa pikipiki.
Fayiro endala eri nnamba CRB: 133/2022, eyamuggulwako ku Poliisi y’oku Jinja road oluvannyuma lw’okuteega munnansi wa Ethiopia (Dawit Kasa) n’amunyakulako essimu bbiri ezibalirirwamu obukadde butaano n’ekitundu ne ssente enkalu emitwalo 18. Bino byaliwo ku luguudo lwa IBIS Valle, okumpi n’ekitebe ky’Omubaka wa Turkey mu Uganda. Ku musango guno Bakka yakwatibwa kyokka oluvannyuma kkooti n’emuyimbula.
Yali yaakayimbulwa ate n’abba ssente akakadde kamu n’ekitundu ku Muchina (Lee Yunjin), ate olwaddako n’abba essimu ekika kya iPhone ne ssente emitwalo 80 ku Muchina omulala ayitibwa Zhang Zhixing. Poliisi egamba nti okumukuba amasasi kyaddiridde okugezaako okulwanyisa abaserikale nga bagenze okumukwata.
Ddiiru endala yagirukira Kikaaya n’abba obukadde 2 n’ekitundu ku Muyindi Karmal Arvind. Bakka era aliko essimu ekika kya Sumsung A7 gye yabba ku mukungu okuva ku kitebe kya Germany mu Uganda.
Misoni endala kigambibwa nti yagirukira okumpi ne Restaurant ya Rohazo esangibwa e Kololo. We bamuttidde nga yaakayimbulwa okuva e Luzira omwezi oguwedde gye yali yaggalirwa ku misango gy’okubbisa eryanyi.
Abamu ku banne b’abadde akola nabo misoni okuli Ibrahim Mugalu eyali yakazibwako Nakwero naye abakuumaddembe baamukuba amasasi agaamuttirawo, bwe yali adduka nga bagezaako okumukwata.
Ekibinja kikyali kinene - LC
Kagimu Kawooya, ssentebe wa LC I mu Bokasa zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe yagambye nti ekibinja kya Bakka kinene ng’obuzibu balina koodi ze bakozesa okuli Busagwa, Tiger n’amalala agakaluubiriza ababanoonya okubazuula.
Yagasseeko nti babadde bawulira “DPC Kasolo” atigomya abantu naddala ababa bava ku bbanka ne ku Mobile Money, kyokka nga tebamanyi bw’afaanana okutuusa lwe baamusse.
Yagambye nti ekibinja kino kibadde kitigomya n’ekiro nga kisinziira ku Luyinja e Nansana ne Nansana ku Kibbulooka ne ku Masitoowa ne ku ttaawo e Kawaala nga bwe bava e Lubaga bayingira Kawempe ne bakozesa obuyinja obumanyiddwa nga ‘pavers’ ne bakuba ababeera batambula ekiro ne babanyaga. Tebataliza ba bigere, ab’emmotoka ne pikipiki