Ebitiisizza Putin n’owa Syria okuziika owa Iran

May 25, 2024

Abaabadde basitudde omubiri gwa Raisi nga bagutwala okuguziika.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

IRAN bwe yabadde yeetegekera okuziika abadde Pulezidenti waayo Raisi Ebrahim eyafiiridde mu kabenje k’ennyonnyi, enteekateeka zaakoleddwa okukyaza abakulembeze b’amawanga ag’enjawulo omwabadde ne Pulezidenti Vladimir Putin owa Russia, Recep Tayyip Erdogan owa Turkey, Bashar al Assad owa Syria n’abalala.
Wabula Putin, Erdogan ne al-Assad tebaalabiseeko kuziika mukwano gwabwe era kyategeerekese nti baasomye embeera ne basalawo obutalinnya Iran nga balina ebintu bingi bye beekengedde naddala oluvannyuma lw’akabenje akasse Pulezidenti Raisi okuba ngakiteeberezebwa nti Yisirayiri ne Amerika zandibaamu n’omukono Wadde nga Putin aliko ekibaluwa ki bakuntumye ekya kkooti y’ensi yonna nga bamulumiriza nti akoze ebivve bingi omuli n’okutwala ku mpaka abaana ba Ukraine mu Russia olw’olutalo oluli wakati w’amawanga ago, Putin mugumu era wiiki ewedde yabadde China nga tatidde kumukwata.
Ekibaluwa ekyo kitegeeza nti n’ensi yonna gy’obeera okyadde, kigikakatako okukukwata n’ekutwala mu kkooti.
Vladimir Putin wa Russia mugumu n’eggye ly’eggwanga lye likwata kyakubiri mu maanyi mu nsi yonna kyokka bwe yabazeebazeemu akavuyo akali mu mawanga g’ekyondo kya Buwarabu, yalabye akatogo k’ayinza okulemeramu.Okusooka ekyasudde ennyonyi ya Raisi tekinnakakasibwa nga kiri wakati w’okuteebereza bambega ba Yisirayiri aba Mossad, embeera y’obudde, payiroti eyagisudde n’ebirala ebikyanoonyerezebwako nga ne Putin kennyini bikyamubobbya omutwe.
Amawanga ageetoolodde Iran agamu tegajaagala olw’amaanyi gaayo era balinze kimu olumu Yisirayiri kugakunga bwe wabaawo ammanduso ey’amaanyi gajiyambeko okugikuba.
Waliwo obubinja bw’abayeekera okuli aba Houthi rebels mu Yemen, aba Hezibollah mu
Lebanon, Katab Hezbollah mu Iraq n’obulala bungi mu mawanga agali okumpi ne Iran era nga buwagirwa Iran naye weebuuze nti ate obuwagirwa Iran butiisa butya Putin okuziika mukwano gwe owa Iran. Omuntu ow’amaanyi nga Putin tamala gakolebwako
bulabe. Walina okubaawo okubuzaabuza okw’amaanyi eri abamuwalana katugambe singa aba wakukolebwako butemu ng’obwo obuteeberezebwa nti bwe bwakoleddwa ku Raisi.
Kyangu ensi emu okumukolako obutemu ng’ababukoze berimbise mu bubinja obwo waggulu.
Ate era kyangu akamu ku bubinjaobwo okukozesebwa ne kakolawo Kinajjuukira nti mu
Iran emirundi egimu bwe wabaddengawo okukungubaga, waliwo bbomu ezizze zitulikira bakungubazi okuva mu bannalukalala nga nakyo Putin
akimanyi.
Wano bambega ba Russia ab’ekitongole kya Federal Security Service ekya Russia ekyadda mu kifo kya KGB kwe kyasinzidde okukakasa Putin yerekereze okugenda mu Iran nga mukwano gwe Raisi aziikibwa ku Lwokuna. Okusinziira ku mawulire ga Intelli News, omuwandiisi wa Putin, Dmitry Peskov ye yayasanguzza amawulire oluvannyuma nti Putin gwe babadde balinze mu Iran ng’omuziisi omukulu tagenda kulinnyayo.
Teyawadde nsonga naye obubaka obukubagiza ne babusindika na maanyi n’ekibinja eky’amaanyi ekyakulembeddwa sipiika wa Palamenti ya Russia, Vyacheslav Volodin.
Hossein Amir-Abdollahian abadde minisita wa Russia ow’ensonga z’ebweru ye aziikibwa leero n’abalala buli omu yaweereddwa obudde bubwe. Mu kusooka kyali kyategeezebwa nti Putin agenda kulumba mu Iran n’ebyokwerinda ebitabangawo mu
kitundu kyokka waliwo bambega bwino gwe baamuwadde nti, ekyasse Raisi nga tekinakakasibwa tayinza kwesaliza mu Iran. Ennyonyi ya Raisi waliwo bwino ateeberezebwa okuba omutuufu nti yasannyalaziddwa ebyuma by’abalabe n’ebulwasigino n’egwa. Kati Putin eyabadde agenda n’ennyonyi ennwanyi ez’amaanyi
ekika kya Sukhoi-35 empya nnya nga zikuuma eyiye erudda n’erudda, kyabadde kiyinza
obutayamba kubanga n’eya Raisi era yabadde n’ezigikuuma. Ensonga ezaagaanye Putin zeezimu ezaatiisizza owa Syria kubanga ate era naye aludde mu buyinza nga bamunenya okubeera nnakyemalira

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});