Ebipya ebizuuse ku babaka abaakwatiddwa kkamera nga beeweeweeta

EBIPYA byongedde okuzuuka ku babaka abaakwatiddwa kkamera mu palamenti nga beeweeweeta.

Ababaka nga beeweeweeta. Mu katono ye Kabuusu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EBIPYA byongedde okuzuuka ku babaka abaakwatiddwa kkamera mu palamenti nga beeweeweeta.
Mu katambi akaafuluma omubaka Juliet Nakabuye Kakande ( Mukazi/ Masaka) yali
aweeweeta munne ensingo, olwo omubaka omulala eyali abatudde emabega n’amukwakkula omukono nga naye ayagala amuweeweete.
Bukedde yeetegerezza akatambi akaakwatiddwa kkamera za Palamenti ku Lwokuna mu lutuula olwayisizza Bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja n’ekizuula ng’omubaka w’e Kyamuswa, Moses Kabuusu ye yakwakkudde omukono gwa Nakabuye nga naye ayagala amuweeweeteko.
Ebifaananyi ebyakwatibwa biraga Kabuusu eyabadde atudde ku mutto ogw’emabega wa
Nakabuye nga bakwatagana mu ngalo.
Obwedda emikono gitambula okuva mu kibatu ne gituuka mu kiseke n’okwambuka nga bwe beekuba obuwuna awatali kufaayo ku balabi.
Waliwo ekiseera we kyatuuse Nakabuye n’alabika ng’eyeerabidde omukono gwe ku Kabuusu eyamubadde emabega. Omubaka Bumaali Mpindi eyasoose okulabikira mu katambi nga bamuweeweeta yayingidde luvannyuma mu mboozi ya Kabuusu ne Nakabuye.
Nakabuye yaleese omukono n’aguteeka ku nsikya ya Mpindi n’atandika okumuweeweeta. Kabuusu eyabadde yeekubye edda obuwuna ne Nakabuye yagenze okulaba ng’essanyu limuyitako n’akwakkula omukono ogwabadde ku Mpindi n’akutama n’agweteekako ku mutwe.
KABUUSU KYAGAMBA
Omubaka Moses Kabuusu bwe yabuuziddwa ku byafulumidde mu katambi nga biraga
omuntu amufaanana ng’aweeweetwa omukazi yagambye nti bino tebirina kye bizimba ggwanga. Teyeegaanye wadde okukkiriza nti yabadde ye, wabula n’ategeeza nti;
“Olwo bibakwatirako wa, olwo ani gwe biyamba kuba si nze, si ggwe wadde abantu bange tebibazimba.
Onkubiranga ng’olina ebintu byamakulu by’oyagala njogereko” Kabuusu bwe yategeezezza omusasi ku ssimu.
BAAGALA PALAMENTI EBEEKO KYEKOLA
Abantu ab’enjawulo balaze obutali bumativu n’okwemulugunya ku ngeri ababaka gye batatwala lukiiko lwa ggwanga ng’ekikulu ne batuuka okweweeweeteramu.
Omumyuka wa Loodi Meeya, Doreen Nyanjura yagambye nti ababaka bwe baba ng’awo we batuuse nga bateeseza eggwanga kimalamu amaanyi.
Christine Namuwaya omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu okuva mu Nurture Uganda yagambye nti wadde nga olutuula lwa Palamenti lwabadde luwumuddemu naye tewali nsonga lwaki omubaka yandibadde yeeyisa mu mbeera bwetyo. Omwogezi wa Palamenti Chris Obore yavumiridde eneeyisa y’ababaka n’agamba nti baayise
we balina okukoma